Faaza owa Eklezia Katolika asangiddwa ng’afiiridde mu loogi gye yagenze okusula ne kyanakiwala nga beesanyusaamu!
Faaza Joseph Kariuki 43, ye yasangiddwa ng’afiiridde mu ka wooteeri ka Monalisa Hotel, gye yagenze okusula mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga nga, June 8 ne kyanakiwala.
Poliisi y’omu kibuga ekikulu ekya Kenya, Nairobi etegeezezza nti Faaza mu loogi yagenzeeyo n’omukazi Ruth Nduhi, 32 gye baamaze ekiro kiramba nga balya bwe banywa ssaako ekijuujulu kino okulambuza Faaza ebyalo!
Kyokka poliisi egamba nti nga bukya, Faaza yafunyeemu kantoolooze ekyatiisizza muninkini we okuddukira eri abatwala loogi okubasaba obuyambi bamudduse mu ddwaaliro kyokka baabadde bamutuusa ku ddwaaliro lya Kenol Hospital n’akutuka!
Lipooti ya Poliisi etegeezezza nti Faaza yafiiridde mu mutto ogwemabega ng’avaamu omusaayi mu nnyindo ne mu kamwa era omulambogwe baagututte mu ggwanika lya ly’eddwaaliro lya Mater Hospital okwongera okunoonyereza nga n’omukazi gwe yasuze naye yakwatiddwa.
Faaza Kariuki abadde musossodaati wa Eklezia ku kitebe ky’Obussaabasumba bw’e Nairobi era abadde mulimi kayingo mu kitundu kya Mang’u, mu ssaza ly’e Kiambu.