23.6 C
Los Angeles
September 23, 2023
Image default
AmawulireEbyemizannyoFeatured

FORTEBET EWADDE EDDWALIRO LY’E JINJA EBY’OKULWANYISA COVID-19

Fortebet ekyayongera okulaga nga bw’ejja okulwanira awamu ne Bannayuganda okulwanyisa ekirwadde kya COVID-19. Fortebet era yazzeemu okugabira eddwaliro ly’e Jinja ebikozesebwa mu kulwanyisa ekirwadde kya COVID-19. Ebyaweeredwo mwabaddemu eccupa za ssanitayiza ne masiki nga byonna awamu bibalirilwamu obukadde 10.
Ettu lino lyaweeredwayo ambasada wa Fortebet, Alex Muhangi ng’ali wamu n’omwogezi wa Fortebet, John Nanyumba.
Nga yaakamala okukwasibwa ettu lino, principal w’eddwaliro lino, David Ssemakula yagambe nti, “Fortebet ye kkampuni ya bbeetingi esoose okutudduukirira. Kibadde tekibangawo era tuli basanyufu nnyo kubanga obwetaavu bwa sanitayiza ne masiki bwa buli lunaku.”
Muhangi yategeezezza nti, “Eno nkola ya Fortebet okuddiza abantu. Twefiirizza akatono ketulina kubanga tukimanyi bulungi nga ekirwadde kya COVID-19 bwekikyaliwo. Ate tumanyi nga eddwaliro lino bweliri essaale ennyo mu kulwanyisa COVID-19 mu ttunduttundu ly’ebuvanjuba.”
Fortebet era yagabye n’ebirabo ebirala nga reflector jackets, emipiira, emijoozi, enkofiira n’amasimu.

abamu ku ba bodaboda abafunye ebirabo okuva mu fortebet e jinja
ReplyForward

Related posts

Eyatomedde omukungu wa gavumenti gamumyuse.

OUR REPORTER

Mao aweze okulwanyisa ebikolwa  ebityoboola eddembe ly’obuntu

OUR REPORTER

Omusajja asirittuse n’agwa mu mugga Lubigi amazzi ne gamutwala.

OUR REPORTER

Leave a Comment