AKAKIIKO akakwasisa empisa mu ‘FUFA’ ekibiina ekifuga omupiira mu ggwanga, katanzizza ttiimu ya Mbale Heroes mu Big League emitwalo 50 n’abasambi baabwe babiri okusubwa emipiira gya sizoni ebiri nga tebazannya.
Kino kiddiridde abasambi ba Mbale Heroes abaakaligiddwa okuli; Brian Olega ne Joel Ayella okuwakula olutalo ku ddifiri Richard Kimbowa eyali mu mitambo gy’omupiira nga Arua Hills FC ekola amaliri (1-1) ne Mbale Heroes ku kisaawe kya Mbale Municipal Stadium (April 15, 2021).
Mu mupiira guno Mbale Heroes yakulembera(1-0) okumala eddakiika 72 wabula mu y’e 73, Arua Hill yafuna ggoolo ey’ekyenkanyi eyavaako olutalo ng’abannyi ba Mbale bawakanya ‘Free kick’ ddifiri gye yagaba n’evaamu ggoolo mu ddakiika ey’e 73 ekyawaliriza n’abawagizi okuyingira ekisaawe.
Omuzannyo gwamala eddakiika 8 nga guyimiridde ekyawaliriza Poliisi okubyetabamu okukakkanya embeera omupiira ne guddamu okuzannyibwa.
Deo Mutabazi akulira akakiiko akakwasisa empisa mu ‘FUFA’ agamba nti okusinziira ku ebbaluwa ya ddifiri, n’obutambi obwakwatibwa, abazannyi Brian Olega, Joel Ayella ne Jamaldine Karenzi be baatandika olutalo, ekiwaliriza abawagizi okwesogga ekisaawe n’okwagala okukuba abakungu ba Arua Hill.
“Bano tubakalize emipiira ebiri nga tebasamba, ttiimu ya Mbale Heroes yaakutanzibwa emitwalo 50, ekirala baddifiri b’agaanibwa okuyingira akasenge gye bambalira era baakyusiza bweru ekitali kikolwa kirungi,” Mutabazi bwe yawadiise.
Chris Omonyi akulira emirimu mu ttiimu ya Mbale Heroes awakanyizza okusalawo kwa ‘FUFA’ kuba tewali katambi kalaga nti abasambi baabwe baalwanye oba okubaako gwe batusaako ekisago.
“Ddifiri yalimbye, ekibonerezo ky’abadde tekisaanira, obutakkaanya ku kisaawe bubeerawo. Naye tetufuddeyo ekibonerezo kijja kuggwaako naye ‘FUFA’ eyogereko ne baddifiri baabwe kuba omutindo gwabwe gwa kiboggwe,” Omonyi bwe yategeezezza.
Brian Olega ne Joel Ayella baakusubwa omupiira gwa leero nga Mbale Heroes ezannya Blacks Power n’ogwa Kataka ku Ssande.