ETTENDEKERO erisomesa abavubuka okufuna obukugu mu mirimu egy’enjawulo ku
bwereere ligguddwaawo.
Ettendekero lino lyakuyamba abavubuka okuva mu disitulikiti mwenda ezikola ekitundu
kya Greater Masaka. okuli; Masaka City, Masaka, Kalungu, Bukomansimbi, Ssembabule, Lwengo, Kyotera, Rakai, Lyantonde ne Kalangala. Ettendekero lino liyitibwa Masaka Presidential Industrial Hub nga lye limu ku matendekero 21 agalina okuzimbibwa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo. Erya Masaka balizimbye okuliraana ettendekero ly’abasomesa erya Ndegeya Core PTC e Masaka.
Newankubadde mu bitundu ebirala amatendekero gano gaali gaamalirizibwa ne gatandika okusomesa abayizi, ery’e Masaka libadde teritandikanga olw’obuzibu obwenjawulo obubaddewo.
Bagguddewo n’abaziyi 240 abali wakati w’emyaka 18 ne 35 nga baggyiddwa mu disitulikiti mwenda.
Baakutendekebwa mu bukugu obw’enjawulo omuli okubajja, okusiba enviiri, okufumba, okwokya enviiri, okugatta omutindo ku birime ebyenjawulo n’ebirala.
Batendekebwa okumala emyezi mukaaga ne bafuna satifikeeti ya Directorate of Industrial Training (DIT).
Ettendekero teri munwe gwa nnusu gusasulwayo a byonna
ebyetaagisa bisasulwa State House. Ligenda kusinga kuyambako baana abatalina
mwasirizi.
Omuyizi okufunayo ekifo, akakiiko akatuulako ka bantu munaana ke kalina okusooka
okukusunsula abayizi. Kuliko; RDC, ssentebe wa disitulikiti oba Mmeeya, Ssentebe wa NRM mu disitulikiti, akulira abakozi ba gavumenti mu disitulikiti (CAO),

Ssentebe w’abavubuka mu disitulikiti, Ssentebe w’abakyala mu disitulikiti ne DISO w’ekitundu ekyo. Omuntu yenna alinaobwetaavu okuyingira mu ttendekero lino waddembe okutuukirira omu ku bantu ab’omu kitundu kye n’ajjuza empapula ku bwereere n’ayingizibwa.
Wabula ettendekero lino nga lyakaggulwawo, wazzeewo okwemulugunya
okuva mu bantu ab’enjawulo mu bitundu bino ku nkola awamu n’emitendera egigobererwa mu kuyingiza abavubuka.
Judith Nalwoga, omukulembeze w’abakyala mu disitulikiti y’e Masaka yategeezezza nti waliwo abakyala ab’enjawulo abamutuukiridde nga bamusaba abayambe
bafunire abaana baabwe ebifo mu ttendekero eryo kyokka nga ye talina ky’abadde alimanyiiko.
Ekyasinze okumumenya kwe kutuuka mu ofiisi z’abantu be kikwatako ne bamutegeeza
nti ebifo by’abayizi ababadde bayingizibwa bwe byabadde byaweddewo n’asabibwa agezeeko oluvannyuma lw’emyezi 5. Buli disitulikiti yaweebwa
omukisa okusunsula, bayingize abayizi 24 buli lusoma. Yeemulugunya ku nkola = egobererwa mu kuyingiza abayizi abaganyulwa mu nteekateeka eno ezirabise nga esosolamu abaana n’ebyana. Ahmed Kategeregga Musaazi RCC wa Masaka City yatenderezza enteekateeka eno gye yayogeddeko nga bw’egenda okuyambako okuziba ekituli ekibadde mu bitundu bino eky’obutaba na ttendekero lya gavumenti so nga obwetaavu bungi