17 C
Los Angeles
September 25, 2023
Image default
EssanyuFeatured

Gavumenti eddiza bamakanika ekitundu ku katale ka Kisekka.

Gavumenti eddiza ekitundu kya katale kowa Kisekka ekibaddeko ekibaati okumala emyaka 8 eri abasuubuzi naddala bamakanika basobole okukikoleramu era bakikulaakulanye.

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga ki Kampala Capital City Authority (KCCA) kyekikoze kino wakati mu bukuumi obwamaanyi okuva mu magye ne poliisi.

Akulira ekitongole ki KCCA, Dorothy Kisaka asinzidde mu kifo kino nategeeza nti kyebakola kwekuteeka mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti Museveni kyeyawa nabasaba okwezza obuyinza bw’obutale  era babuwe bamufunampola babuddukanye.

Kinajjukirwa nti ekifo kino kimaze ebbanga nga kikaayanirwa wakati w’abagagga abavaayo okukikulaakulanya awamu n’abasuubuzi.

Akulembeddemu ekikwekweto kino, Maj Gen Emmanuel Kuteesa  ategeezezza nti sibaakussa mukono okutuusa nga bamufunampola batandise okuganyulwa mu butale obwateekebwawo gavumenti.

Ye amyuka omubaka wa Pulezidenti mu Kampala, Yasin Ndidde Njasabiggu  agamba bamakanika okubafunira webakolera kigenda kuyamba nnyo ku kukendeeza obumenyi bwamateeka obubadde bufuuse ekyonga ewa kisekka.

Bo bamakanika n’abasuubizi baaniriza enteekateeka eno era nebasiima Pulezidenti Museveni olw’okubafaako era bano mukujaganya basaze ente nga akabonero ak’obuwanguzi bwebafunye oluvannyuma lw’ emyaka 8.

Engoma n’embuutu nabyo bisindogomye nga bamakanika bagamba babadde mumbeera mbi etabasobozesa kunoonya nsimbi.

Enkayana zino ezimaze ebbanga zibadde wakati wa gavumenti ne Rtd Brig Mugyenyi eyali nnanyini ttaka nerimutwalibwako mu lukujjukujju wadde gavumenti egamba nti ono gavumenti yali yamusasula.

Akatale kewa Kisekka keegasse ku Wandegeya okununulwa gavumenti nekadda mu mikono gya bamufunampola era KCCA erina enteekateeka ezitalaaga obutale bwayo bwonna nga ekola kyekimu.

Related posts

Abasuubuzi balaajanidde gavumenti ebataase ku mabanja gebalina .

OUR REPORTER

Nandutu agamba emisango egimuvunaanibwa tegirambikiddwa mu ssemateeka.

OUR REPORTER

Olubiri e Mmengo lwawuumye nga Kabaka asimbula abeetabye mu misinde gy’amazaalibwa ge aga 2022.

OUR REPORTER

Leave a Comment