14.6 C
Los Angeles
December 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Gavumenti eleese emisolo emikakali mu bajeti ya 2023/2024.

GAVUMENTI etaddewo engassi ya kusasula obukadde bubiri oba okusibwa emyaka esatu singa osangibwa ng’ovuga endiima.

Bino biri mu nnongoosereza ezaakoleddwa mu tteeka erifuga ebidduka erya Traffic and Road Safety Amendment Bill. Kino kikoleddwa okukendeeza obubenje kuba bagamba nti obubenje 80 ku 100 buva ku kuvuga ndiima.

Abantu abali wakati wa 3,500 ne 4,000 be bafiira mu bubenje buli mwaka okusinziira ku lipooti za poliisi ezikwata ku bumenyi bw’amateeka eya buli mwaka.

Minisita omubeezi ow’ebyensimbi, Amos Lugoloobi ku Lwokuna yayanjudde emisolo emipya mu Palamenti egisuubirwa okuba mu bajeti y’eggwanga ey’omwaka gwa 2023/2024 ekitiisizza nti gyandyongera okukalubya embeera.

Ebintu ebirala ebigenda okuggyibwako omusolo bye bintu ebirangibwa ku mikutu gya Social Media nga bitundibwa era kino kitegeeza nti bannanyini mikutu nga Facebook, Twitter, Youtube ne Tiktok babeera balina okusasula Gavumenti emisolo Bannayuganda okugikolerako.

Abakolera bizinensi ku mitimbagano (online business) naddala abali ebweru w’eggwanga nga beeyambisa Internet n’enkola ya tekinologiya ow’enjawulo bassiddwaako omusolo gwa bitundu 15 ku buli 100.

Abantu abeegatta awamu ne batandikawo pulojekiti ekola ssente, amagoba ge bakoze gavumenti egenda kutandika okugasoloozaako omusolo gwa bitundu 5 ku 100 ku magoba nga tebasussa bukadde 100 ate abasussa basasule ebitundu 15 ku buli 100.

Kyokka kino tekikwata ku bibiina bya SACCO abantu mwe beegattira. Okutunda ettaka oba ennyumba, Gavumenti ekitaddeko omusolo gwa bitundu 4 ku 100 nga zirina kusasulwa agula. Kyokka abafumbo bwe baba bakyusa nga baawukanye nga kibeetaagisa okukyusa ebiwandiiko tebasasula musolo. Ebintu by’obusika nabyo si byakusasula musolo.

Kkampuni ezitakola magoba nga ziwezezza emyaka egisoba mu etaano nga buli mwaka ziraga nti zifiirwa, Gavumenti eyagala zissibweeko omusolo kuba bakizudde nga kkampuni ezimu bakakozesa ng’akakodyo okwewala okuwa omusolo.

Kyokka omwogezi w’ekibiina ekigatta abasuubuzi mu Kampala ekya KACITA, Issa Ssekito yagambye nti bizinensi ekoze amagoba yonna y’esaana okusasula omusolo kuba nnyingi zikolera mu kufiirizibwa.

Yagambye nti ezitakola magoba zirina kuyambibwa kusituka si kuzongerako kazito.

Yagambye nti emisolo emingi tegirina kye giyamba n’awa ekyokulabirako ky’emisolo emingi ku bintu ebiyingira mu ggwanga egigobye abantu mu busuubuzi.

Godfrey Kirumira, ssentebe wa Bagagga Kwagalana yagambye nti bagenda kutuula ng’abasuubuzi beekenneenye emisolo gyonna balabe engeri gye batuukiriramu Gavumenti balabe nga tewali ludda lukosebwa.

Omubaka Yusuf Nsibambi (Mawokota South) yalabudde ng’emisolo emipya bwe gigenda okusajjula ebyenfuna ebiri obubi.

Yagambye nti okuleeta emisolo ng’ebyobulimi ebisinga okuyimirizaawo Bannayuganda tebifiiriddwaako kikyamu kuba abantu gye balina okuggya ssente ezisasula emisolo.

Related posts

FORTEBET PAINTS A SMILE ON MAGANJO H/C II MOTHERS.

OUR REPORTER

Omuliro gwongedde ogwokya n’okutta banna Uganda  gwongede okwelalikirizza  gusse abaana , 2  e Makindye  

OUR REPORTER

Omulabirizi Ssebaggala alabudde abakulembeze

OUR REPORTER

Leave a Comment