Bya Musasi Waffe
Gavumenti nga eyita mu ofiisi ya ssabaminisita egenda kusengula abantu 22 mu mutendera gw`okusatu abamu ku baakosebwa okubumbulukuka kwe ttaka mu district ye Bududa ne mu bitundu bye nsizi ze Bugisu, ssentebe we ggombolola ye Bundesi mu Bududa Francis Nampoli yagambye nti bafunye okutegeezebwa na bakulu okuva mu ofiisi ya ssabaminisita nti ku mulundi guno guno gavumenti egenda kusengula abantu 22 okuva mu bitundu bye Bugisu ate 11 nga bano bagenda kuva mu district ye Bududa. Abantu abasoba mu 9000 baasengulwa mu bitundu bye nsozi gye baali babeera oluvannyuma lwe ttaka okubumbulukuka ne lisanyaawo buli kye baali balina, kyokka ekuba omunaku tekya, abantu bano abamu baali basula mu bizimbe bya masomero ebbanga lye gabadde ku muggalo, wabula okusoma olwazzeemu nebagobwa mu bibiina mwe babadde basula.
Omumyuuka wa ssentebe wa LC5 e Bududa Rachael Nabulo yagambye nti ekizibu kye balina nti abantu bangi nnyo abatalina we basula nga kati basula mu matundubaali oluvannyuma ate lwo kugobwa mu bibiina bya masomero mwe babadde bewogomyeeko, gavumenti erina okwongera amaanyi mu kuzimba amayumba mu bwangu okusobola okuddusizaamu abaasengulwa ettaka kyokka emirimu gy`okuzimba gitambula kasoobo. Omulimu gwo kusengula abantu e Bududa gavumenti yagitandika mu 2019 oluvannyuma lwo kugula Hectares 2800 e Bunambutye mu district ye Bulambuli.
Ssentebe wa baasengulwa e Bududa Nathan Wanasolo yagambye nti mu kiseera kino abantu abamu ate badduka e Bunambutye gye baali basenguliddwa ne baddayo e Bududa nga bagamba nti enjala ebula okubattira mu mayumba, nga balumiriza Abalaalo abalina emmundu ne nte nnyingi okuziyimbulira mu nnimiro zaabwe, kwe kusalawo okudda gye baava.
Muhofa Titus nga ye Senior Disaster Management Officer mu ofiisi ya ssabaminisita yagambye nti gavumenti ekola ekisoboka okulabanga abantu bonna basengulwa okutwaalibwa gye baafunirwa ettaka e Bunambutye mu district ye Bulambuli, yakasizza nti ku mulundi guno bagenda kusengula abantu 22 kubanga ge mayumba agaliwo, mu mutendera ogwasooka gavumenti yasengula abantu 140 naye olwe byenfuna ebyagoyebwa omuyaga gwa kkovidi embeera ye bye nsimbi yeeveera nga abantu balina okugumikiiriza okutuuka lwe kinaggwa. Ku nsonga y`okusengulira abantu mu Bududa mwennyini Muhofa yagambye nti district terina ttaka kweyinza kuzza bantu.
Mu June 2012 abantu abasoba mu 450 baakosebwa ettaka eryabumbulukuka e Namaga mu ggombolola ye Bumwalukani mu Bududa. Mu October 2018 abantu abasoba mu 500 baakosebwa ettaka eryabumbulukuka mu Suume mu ggombolola ye Bukhalasi era mu Bududa. Mu June 2019 abantu abasoba mu 350 baakosebwa ettaka mu Buwali mu ggombolola ye Buwali mu Bududa.