9.9 C
Los Angeles
March 29, 2023
Image default
AmawulireFeatured

‘Gavumenti eyalayidde erwanyise obuli bw’enguzi’

DISITULIKITI Khadi wa Luweero, Sheik Ramadhan Mulindwa asabye gavumenti eyalayidde esse essira ku kulwanyisa obuli bw’enguzi ng’ekangavvula ababwenyigiramu omuli okubasiba n’okubagoba ku mirimu kuba bazza eggwanga emabega.

Mulindwa era asabye Abasiraamu ku mulundi guno baweebwe ebifo ebisava omuli obumyuka bwa pulezidenti, Katikkiro n’ebirala kuba abayivu nabo babalina.

Yasinzidde mu kusaala Idi ku muzigiti e Kasana mu Luweero n’asaba gavumenti eyimbule abaasibwa ku by’okulonda okusobola okukkakkanya abantu baabwe emitima baleme kutaataaganya kisanja n’okwewala okukwata obubi abantu omuli okubatulugunya kuba kitta ekifaananyi ky’eggwanga.

Yasabye Abasiraamu okugenda mu maaso n’okukola ebikolwa ebirungi nga bwe babadde bakola mu kisiibo, omuli okuyamba bannaabwe n’okusaala Juma.

Related posts

Owek. Mayiga asisinkanye abakyala abawandiika ebitabo.

OUR REPORTER

Owek. Kawaase alambudde ab’e Mubende ku ebola.

OUR REPORTER

Ababaka ba Palamenti basiimye Nnaabagereka.

OUR REPORTER

Leave a Comment