17.4 C
Los Angeles
December 7, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Gavumenti  terina ssente zitambuza ggwanga, Minisita Kasaija.

Minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija ategeezezza akakiiko ka Palamenti  akalondoola ebyenfuna by’ eggwanga nti embeera ebayinze obuto nga batandise okulemererwa kuba ne ssente ezirina okutambuza eggwanga tebalaba webaziggya.

Kasaija annyonnyodde nti eno y’ensonga lwaki ssente ezaweerezebwa mu bitongole bya gavumenti mu kitundu ky’omwaka gw’ebyensimbi ekya 2022/2023 zaali ntono ezitalina kyamanyi kyezisobola kukola.

Ono alaze okutya ku nsimbi ezikung’aanyizibwa ekitongole ki Uganda Revenue Authority zagamba nti ntono nnyo mukiseera kino olw’ebyenfuna ebiserebye neyesanga nga talina ssente zakuweereza bitongole okutambuza emirimu.

Minisita Kasaija agamba balowoozezza okwewola mu bbanka enkulu ey’ eggwanga naye batyaayo amagoba amangi agagenda okubasabibwa nga kati basobeddwa eka nemu kibira.

Kasaija yeeyamye eri ababaka bano okubatwalira omuteesiteesi omukulu owa Minisitule y’ebyensimbi Ramathan Ggoobi abannyonnyole ku kituufu ekigenda mu maaso.

Kinajjukirwa nti gyebuvuddeko Minisitule y’ebyensimbi yategeeza eggwanga nti ensimbi entono ezasindikibwa eri ebitongole zaali zigendereddwamu okulwanyisa okunaabuuka kwa ssente ya Uganda kuba buli lwezibeera ennyingi mu bantu namaanyi gaazo gakendeera.

Omubaka omukyala owa Namayingo, Margret Makhoha yeebazizza Minisita olw’okwogera ekituufu naye namusaba addeyo n’enteekateeka erina okugobererwa okutaasa embeera eno.

Related posts

Yisirayiri efiiriddwa abajaasi 16 mu nnaku 2.

OUR REPORTER

Abatuuze bagudemu ekikangabwa mu disitulikiti y’e Kalangala.

OUR REPORTER

Abawagizi ba NUP 32 bavunaaniddwa gwakulya mu nsi yaabwe olukwe.

OUR REPORTER

Leave a Comment