Gen Muhoozi Kainerugaba yeeyamye okuyamba okukyusa ekifaananyi kya Kampala
Omuwabuzi wa Pulezidenti ku bikwekweto eby’enjawulo, Genero- Muhoozi Kainerugaba eyakazibwako erya ‘MK’ yeeyama okumukwatirako okulaba nga ekibuga Kampala kiyakaayakana.
Bino okubyogera, yabadde asisinkanye Nnankulu w’ekitongole kya KCCA, Dorothy Kisaka gwe yasanze ku ofiisi ze ku City Hall, ku Lwokusatu.
Yalambudde ezimu ku nguudo eziri mu kibangirizi ky’amakolero (Industrial Area) okwongera okwekenneenya embeeri enguudo mu bitundu bino mwe ziri; okwabadde olwa 6th, 7th, ne 8TH Street.

Kisaka eyabadde awerekeddwako abakungu abalala okuva mu kitongole ky’akulembera, yategeezezza nti wadde ng’enguudo eziri mu Kampala ziwerako obuwanvu bwa Kiromita- 2110km, enguudo eziriko koolansi zikola ebitundu 30 ku buli kikumi byokka, kyokka nga nazo zikyetaaga ssente okuziddaabiriza.
Kisaka yagaseeko nti ekitundu kya Kampala n’emiroraano, kivaamu emisolo ebitundu 75 ku buli kikumi ate abakozi bali 64 ku buli kikumi.
Yagaseeko nti singa ebinnya binaafumwa mu Kampala, kyakuyambako okukendeeza omugotteko gw’ebidduka (ttulafiki jjaamu), olwo Bannakampala batandike okutuuka mu budde ku mirimu gyabwe n’okuddayo mu maka

gaabwe bw’ebatyo.
Ekitongole kya KCCA kigamba nti kirina enteekateeka nnamutaayiika gye balina okutuukiriza wakati w’omwaka gwa 2020 okutuuka mu 2025, okulaba nga ekibuga Kampala buli wamu wayonjo kiyambe okutumbula eby’enfuna by’abantu n’obulamu bwabwe okutwalira awamu.
Bwe banaaba bamalirizza okuddaabiriza enguudo mu Kampala, Kisaka agamba nti disitulikiti eziriraanyewo omuli; Wakiso, Mukono, ne Mpigi nabo baakuyambibwa.