Gibadde miranga na kwaziirana mu kuziika abooluganda basatu abaafiiridde mu mataba e Mbale.
Bano baziikiddwa ku kiggya kimu wakati mu nnamutikwa w’enkuba afudembye.
Prossy Nalubega 37, Mulindwa Richard 25, Edward Mugumya 35 be baziikiddwa ku kiggya kimu kukyalo Kiryankuyege Mutebi ye yabadde avuga emmotoka ey’ekika kya Super Custom in eyabaddemu abaabadde bagenda okwanjula ng’eno yabadde ya kojjaawe Bwoogi ow’e Mpereerwe.
Mutebi abadde akola mu kampuni ya Diva Tours and Travel aziikiddwa ku kyalo Lugasa mu ggombolola y’e Ngogwe mu disitulikiti y’e BUIKWE ng’okumusabira kukulembeddwaamu Rev. Fr. Aloyzios Gonzaga okuva mu kigo ky’e Nabbingo.
Fr. Gonzaga akubirizza abakungubazi bulijjo okubeera ne Mukama mu buli kye bakola kuba okufa tekuliiko kiseera kituufu, tewali alina buyinza ku bulamu bwa munne nti kuba n’oyo alabya banne ennaku ekiseera kijja kutuuka affe.
Wabaddewo okusabira bamulekwa okubadde n’eyaakazaalibwa.
Bbebi W’omugenzi Gwe Baleese Mu Lumbe