Government eyimirizza ensisinkano y’ekibiina omwegattira abakozi ekya NOTU (National Organisation of Trade Unions), ebadde eyokubeerawo olunaku olwaleero.
Mu kiwandiiko ekiteereddwako omukono gw’omuteesiteesi omukulu mu ministry ye kikula ky’abantu Aggrey David Kibenge, kiranze nti abakulu basabibwa okusooka okusisinkana abakulu mu ministry yabwe balambikibwe ekiddako.
Waabalukawo obutakanya wakati wa ssenkulu wa NOTU Usher Wilson Owere ne Ssaabawandiisi wakyo Peter Werike, nga buli ludda lulumiriza lunaalwo okudobonkanya emirimu gy’ekibiina.