17.4 C
Los Angeles
December 7, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Government yeddiza omulimu gw’okusunda amasanyalaze Ku Nalubaale.

Government yeddiza omulimu gw’okusunda amasanyalaze Ku bbibiro lya Nalubaale eryayitibwanga Owen falls dam ne Kiira dam e Jinja, oluvannyuma lw’endagaano ya kampuni ya Eskom ebadde ekola omulimu guno okugwako.

Government mu mwaka 2002 yakansa kampuni ya ESkom Uganda ltd okuva e South Africa okukola ogw’okusunda amasanyalaze ku bbibiro lya Nalubaale n’erya Kiira agasangibwa e Jinja, kati gye myaka 20 egiyiseewo.

Endagaano ya kampuni eno yaweddeko government netagizza buggya, era yasalawo yeddize omulimu gw’okusunda amasanyalaze ng’eyita mu kitongole ki Uganda Electricity generation co. Ltd (UEGCL).

Bw’abadde ku mukolo ogw’okuddiza government obuvunanyizibwa buno, minister omubeezi ow’ebyamasanyalaze Opolot Okasaai ategezezza nti government esazeewo okweddiza ebitongole byayo naddala eky’amasanyalaze okukendeeza ku bbeeyi yaago

Ambasada wa south Africa mu Uganda Mary Xingwana atenderezza enkolagana ennungi wakati wa government ya Uganda ne South Africa eviiriddeko kampuni zewabwe okufuna emirimu kuno.

Eng Mutikanga Harrison akulira ekitongole ki UEGCL ekiwereddwa obuvunanyizibwa gw’okusunda amasanyalaze, asabye ministry okubakwasizaako okuddamu okuddaabiriza ebyuma ebisunda amasanyalaze ebimu birabika nga bikooye.

Akulira ekitongole ki ERA (electricity regularity authority) Eng Ziria Waako asanyukidde ekya government okweddiza eddimu ly’okusunda amasanyalaze ng’agamba nti kyakukendeeza ku bbeeyi era agamba aba ESKOM balese batendese bannauganda abawerako.

Eskom w’eviiiridde mu Uganda erese amabibiro erya Kiira ne Nalubaale nga gasunda obungi bw’amasanyalaze bwa Megga watts 380.

Related posts

Fortebet fires up Kalule, Bombo, Busula, Wobulenzi with priceless gifts.

OUR REPORTER

Police erina byezudde ku baamenya ekanisa.

OUR REPORTER

Kibuyaga asudde amayumba e Kalungu mu kiro.

OUR REPORTER

Leave a Comment