Omuwabuzi wa pulezidenti ku nsonga ez’enjawulo era nga munnansiko Rtd. Maj. Haji Abdul Nadduli alabudde ku bikolwa by’okuwamba abantu mu Drone n’okubatulugunya nti bwe bitaa-komezebwe bigenda kwongera okukyayisa NRM.
Yasinzidde ku mukolo gw’okujaguza amazaalibwa ge ag’emyaka 80 mu makaage e Lusenke mu ggombolola y’e Katikamu mu Luweero n’ategeeza nti ebikolwa bino bibajjukiza ebiseera bya Mpaawo atalikaaba ku mulembe gwa Obote mmotoka layirandi ezaafubutukanga e Makin-dye bwe zaabuzangawo abantu ne bataddamu kulabika.