22.4 C
Los Angeles
June 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Jjajja abadde asobya ku bazzukulu be asindikidwa mu nkomyo.

Omulamuzi wa kkooti ya City Hall  Jane Tibakunzika asindise musajja mukulu  Eid Mohamood Zingo ow’emyaka 62  mu nkomyo, avunaanibwa kusobya ku bazzukulu basatu.

Zingo mutuuze  w’e Bukoto  Namuli zone, asomeddwa emisango 4 nga gyonna gyakusobya ku mabujje, ate ng’akimanyi bulungi nti  alina akawuka akaleeta mukenenya.

Takkiriziddwa kubaako olw’emisango gye okuba egya Nnaggomola egiwulirwa kkooti enkulu.

Bazzukulu abamulumiriza okubakabasanya  bali 3 kuliko ow’emyaka 3,6 ne 9.

Bazadde b’abaana bano babateeka ku ddagala lya PEP libayambeko okulwanyisa okukwatibwa akawuka.

Omulamuzi alagidde Zingo atwalibwe mu kkomera e Luzira okutuusa nga 25th  omwezi guno ogwa April, era n’amuwa amagezi bwaba ayagala okweyimirirwa ateekemu okusabakwe mu kkooti enkulu kubanga yeyina obuyinza okukuwulira.

Kigambibwa emisango egyo musajjamukulu yagizza wakati wa 2020 ne March 2023 mu bitundu bye Bukoto.

Related posts

How VR-Like Immersive Experiences Can Be Produced For Real

vega

Omulambo gwa Babirye eyafiira  e Turkey gukomezebwawo.

OUR REPORTER

Engeri Bannabuddu gye beejagamu olwa Kabaka okusiima okukulizaayo amatikkira ge aga 28

OUR REPORTER

Leave a Comment