22.4 C
Los Angeles
June 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Jjajja eyagenze ku ssomero  okukyalira muzzukulu we afiirideyo.

Jjajja abadde tannafa, abazadde banguye okumuggya mu luggya lw’essomero mmotoka w’emutomeredde ne bamuddusa mu ddwaaliro e Kawolo kyokka bagenze okumutuusaayo ne bakubatema nti afudde.

Omugenzi Rose Ssanyu 53, mukyala wa Wilberforce Sserwanga amanyiddwa nga ‘Chief’ olw’ebbanga eddene ly’amaze ku bwa ‘Ggombolola Chief’ nga mutuuze e Kasenge – Mbalala mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono.

Prossy Namubiru, muwala w’omugenzi, yagambye nti ye ne nnyina baabadde bagenze kukyalira Pricilla Mukyala Tendo owa P5 ku All Saints e Namataba.

Wakati mu maziga, Namubiru yagambye nti baabadde banaatera okusimbula, ne wabaawo omuzadde omulala omukyala abayitako ng’avuga mpolampola emmotoka n’alinnya akatunnumba akava ku ggeeti y’essomero okuyingira oluguudo.

Wabula nti bwe yakatuuseeko, tebamanyi kyabaddewo beekanze mmotoka ng’ekomawo mu livansi (ekyennyumannyuma) kwe kulinnya nnyina ne munyigira ku muti.

Abazadde baaleekaanye nga n’abamu bwe bavuma omuzadde eyabadde avuga mmotoka ng’alemedde ku siteeringi.

Oluvannyuma omuzadde yafulumye mmotoka n’ategeeza nti yalowoozezza nti mmotoka agikubye kumuti.

Sserwanga, bba w’omugenzi, y’omu ku be twasanze mu ddwaaliro e Kawolo.

Yategeezezza nti ekiguddewo kizibu okunnyonnyola nti kuba bulijjo mukyala we akyalira abazzukulu wabula okufiira ku ssomero kimuyitiriddeko. N’awunzika
ng’agamba nti “zonna ntegeka za Mukama”.

Emmotoka eyakoze akabenje yatwaliddwa yaggyiddwa ku ssomero n’etwalibwa ku poliisi e Namataba ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Related posts

Mukomye okulima emmere ey’okukkusa embuto zammwe zokka- Museveni.

OUR REPORTER

WHAT A WIN! PAIDHA CLIENT BANGS 180M FROM 1K

OUR REPORTER

Masaka Abasuubuzi Baduse mu Katale ka gavumenti ako Buwumbi 11

OUR REPORTER

Leave a Comment