Gyebuvuddeko ekiwayi kyabanabyabufuzi abakulebeddwa sipiika w’ ekibuga mukono Allan Mawanda eyakazibwako erya Namyooya basitula enkundi okulwanirira ekibira kya gavumenti e namyooya , munteekateeka yabwe bawakanya entekateeka ya bakulembeze mu kibuga kino okweza ettaka lyekibira gavumenti .
Oluda olwagala okweza ekibira lukulembeddwamu omubaka w’ ekibuga kino Betty Nambooze ,ono akyasanze akaseera akazibu okugusa kino nga bano gyebuvuddeko balangirira nga bwebagenda okutandika okusimba emiti mubifo mwegyasanyizibwawo ng’emu kunteekateeka y’kuzawo ekibira.
Bano balonda 16 /03/2022 okutandiika okukiteka munkola wabula kyababuseko obudde okukya ng’e kibinja ky’ abantu abali wakati 200 ne 400 basazeko ekifo kino, SSEKANOLYA mukwogerako nabano bategezeza nga bwebawebwa ettaka lino omukulembeze w’ eggwanga oluvanyuma lwokusengulwa e BUKASA ekisangibwa mu municipali y ‘ ekira.
Bano bakira abamalirivu bakakasa nga bwebatali betefutefu kuva mu kifo kino nga balinda bulinzi kuwebwa byapa nakutandika kuzimba .
DPC abagumbulula.
Omudumizi wa police e mukono afande Anamaholo Anabera oluvanyuma yaze mu kifo kino nabalagira okwamuka ekifo kino oluvanyuma lwokukizula nga bwebatalina bulambulukufu nokutuka okwesenza ku ttaka liriko enkayana era bwebatyo batandise mpolampola okwemulula nga bwebabulira ekifo.
Ssekamwa wa NRM e mukono ayogedde.
Omwogezi w’ekibiina kya NRM mu district y’emukono Mark Kabunga avumiridde abantu abakola ebikolobero kyokka nga berimbise mulinya lya NRM nokutuka okwenanika uniform y’ekibiina
Rescue namyooya bogedde.
Omukulembeze w’ekisindde ekikulembeddemu okutaasa ekibira Namyooya Allan mawanda avuddemu omwasi nategeza nga bwaludde ng’ alabula ku ba mafia abagala okutwala ekibira era abalina obukodyo obuwerako, alumiriza nti bano beyambisa abantu abekikula kino nebabayiwa mu kifo okulowoozesa abalala nti bano banaku abalina webasula songa nga babayambako kuyisawo munyago gwabwe.
Ono ategezeza nti enkola bweti yaliko ku ttaka lye nantabulirirwa ku lwe Namugongo era mu Division ye gooma.
Sibakusa mukono.
Mawanda aweze nti ketone kagwake sibakusa mukono kunsonga ezikwata ku namyooya kuba bakizudde ng’abegabirako ebyapa batandiise okukozesa olukujjukujju lwonnna okulabanga befunza ettaka lino , oyongeddeko nti ekiseera kyonna kuva kati bakutandiika okusimba emiti nga batandikira awabadde wesenza abantu.
