Kabaka agaanyi abavubuka okuddukira ebweru mu mirimu egitategeerekeka
SSAABASAJJA Kabaka, Muwenda Mutebi II, asibiridde abavubuka entanda mu bubaka bwe obw’okujjukira amatikkira ge ag’omulundi ogwa 30.

Agaanyi abavubuka okugenda ebweru gye bayisibwa nga abaddu nga bakola emirimu gy’ayise egitategeerekeka n’agamba nti ababatwalayo tebabaagaliza ate nga bo bakifunamu nnyo.
”Njagala okubategeeza nti ababatwala ebweru tebalina kirungi n’ekimu kye bababaagaliza. Emitima gyabwe si mirungi, wabula bo bakifunamu nnyo, kale mubeegendereze.” Kabaka bw’agambye.

Abalagidde obutava mu byalo n’obutatunda ttaka lyabwe oba ery’abazadde baabwe, n’agamba nti Obwakabaka bwa kubatuukako yonna gye bali okubayambako okwekulaakulanya.
Kabaka era alagidde Gavumenti ye okuyambako abavubuka okwenyigira mu mulimu ogw’obuvubi gw’agamba nti mulimu mukulu nnyo mu Buganda.
N’awunzika ng’abategeeza nti Abavubuka ly’essuubi lya Buganda era n’abakubiriza okusigala nga bali bumu.