PULEZIDENTI wa Rwanda, Paul Kagame alangiridde nti wa kwesimbawo mu kalulu k’omwaka ogujja (2024) afuge ekisanja ekyokuna.
Kino kiddiridde ekibiina kye ekiri mu buyinza ekya Rwandan Patriotic Front okuddamu okumulonda akikwatire bendera mu kalululu akabindabinda.
Kagame y’abadde Pulezidenti wa Rwanda okuva mu 2000 nga Gavumenti ye ekuumye obutebenkevu kyokka ayogerwako nga afuze bannabyabufuzi abamuvugaya obumbula nga tabawa ddembe kwetaaya.