KALIDINAALI Emmanuel Wamala avumiridde obulumbaganyi obwakoleddwa ku bafaaza b’ettendekero ly’Abaseminaliyo erya Nswanjere Junior Seminary obwaleese nga bafaaza babiri ne Bulaaza batuusiddwako obuvune.
Mu bulumbaganyi buno obwali mu kiro ekyakeesa Mmande, abazigu babba ssente enkalu n’ebintu ebirala ssaako okutyoboola essaakalamentu lya Ucharistiya.
Mu kiwandiiko Kalidinaali kye yawandikidde akulira ettendekero lino, Rev. Fr. John Bosco Kiggundu n’Abakristu bonna mu ssaza Ekkulu erya Kampala, yasaasidde Fr.Emmanuel Mukukule ne Bro. John Bosco Mwasa abaafunye ebisago n’Eklezia yonna olw’ekikangabwa kino.
“Kibi nnyo era twejjusa , olw’ekikolwa kino ,mu mbeera eno neegatta ku Ssaabasumba w’Essaza Rkkulu erya Kampala Paul Ssemogerere n’Abakristu bonna mu Ssaaza ekkulu erya Kampala mu kwegayirira okw’okuddaabiriza omutima gwa Yezu n’okuwonyezebwa kwa bannaffe abaalumiziddwa mu bulumbaganyi buno”, Kalidinaali bwe yategeezezza

Ono era yasabidde ababadde emabega w’obulumbaganyi buno Omukama abawe mwoyo w’okubonerera n’okukyusibwa e Nswanjere embeera ekyali ya kiyongobero.
Bro. John Bosco Mwasa omu ku balumizibwa mu bulumbaganyi buno yategeezezza nti ye ne Fr. Emmanuel Mukukule baasibuddwa mu ddwaliro e Lubaga kyokka nga omukono ogwa kkono gwe yateekayo okwetaasa kwe baakuba ekyuma eggumba lyamenyeka ate nga ye Fr.Mukukule akyanyiga ebiwundu ebyamutusibwako ku mutwe.
Mu mbeera y’emu omulimu gw’okuddaabiriza ebintu ebyayonoonebwa guli mu kugenda mu maaso.
Bo Abakristu mu bigo eby’enjawulo bakyagenda mu maaso okusiiba n’okwegayirira okw’ennaku essatu okwalangirirwa Ssaabasumba w’Essaza Ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere okwakomekkerezebwa leero.