MUSAJJA mukulu agambibwa okubba ‘ekizoosi’ eyamba emmotoka obutawogana asindikidwa mu kkomera e Luzira oluvannyuma lw’okusimbibwa mu kkooti ne yeegaana omusango.
Umaru Kibirige 34, omutuuze w’e Mpereerwe mu munisipaali y’e Kawempe ng’akola gwa kwoza mmotoka e Wandegeya y’asimbidwa mu kkooti ya LDC e Makerere maaso g’omulamuzi Martins Kirya n’asomerwa omusango gw’okubba ku kidduka.
Kigambibwa nti nga April 30, 2023 e Wandegeya mu kifo we booleza mmotoka ekya Focus Car Wash, Kibirige yabba ekizoosi kye bayita “Akasaanyi” okuva ku mmotoka No. UBG 020F eya Nankya Ndagire ng’e balirirwamu ssente 2,500,000/-.

Kibirige omusango yagyegaanyi n’asaba kkooti okumweyimirira asobole okudda ebweru anoonye ssente asasule Nankya n’ategeeza nga bw’atasobola kusasula ng’ ali mabega wa mitayimbwa kuba yakkiriza okusasula.
Agamba nti era nga alina n’abantu b’alina okulabirira okuli maama we n’omwana we abalwadde.
Yagasseeko nti tasobola kudduka kuba ne ku poliisi ye yeetwalayo n’akwatibwa ng’ ebbanga ly’amaze ku poliisi abadde asaba okwogerezeganya ne Nankya wabula nga asuubiza okugendayo naye nga talinnyayo.
Nankya yategeezeza kkooti nti yasooka kulaba mafuta ge nga tegawera era n’abuuza Kibirige ne yeewakana, agenda okuwulira ng’emmotoka ekyusizza envuma kwe kugitwala ne bagyekebejja nga waliwo ebyuma bye yasumuluddeko.

Yagasseeko nti emmotoka ye ekola gwa kutambuza balambuzi naye kati etudde olw’embeera gy’erimu ey’okuwoggana n’ategeeza nti ayagala Kibirige agule ebyuma abizze ku mmotoka ye.
Kibirige, omulamuzi Kirya yamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa nga June 1, 2023 lwanaddizibwa mu kkooti okuwulira omusango ogumuvunaanibwa.