Owek. Charles Peter Mayiga atenderezza nnyo obuweereza bw’ Omulabirizi Rt. Rev. William Ssebaggala bwakoze okumala akaseera era nasaba abantu okumulabirako.
Bino Kamalabyonna Mayiga abyogeredde mu Bulange e Mmengo mu nsisinkano gyabaddemu n’ Omulabirizi Ssebaggala agenda okuwummula obuweereza buno mu mwezi gw’okubiri ogwa 2023.
Owek. Mayiga ategezezza nti obwakabaka n’ekkanisa ya Uganda waliwo enkwatagana ey’omuggundu era waliwo essuubi nti agenda okumuddira mu bigere waakugikuuma.
Ono atendereza omukululo gwalese nti nakakasa nti basanyufu nga Buganda olw’ omukululo gwagenda okuleka emabega.
Katikkiro ategezezza nti obwakabaka bwa Buganda n’ekkanisa ya Uganda bukwatagana bulungi nga nabwekityo emirimu gyalese tejinaggwa tewali kuwannaanya agenda okumuddira mu bigere alina watandikira.
Omulabirizi Ssebaggala abadde azze kuloopa lutabaalo lwabaddemu emyaka 12 ng’Omulabirizi w’e Mukono oluvannyuma lw’okudda mu bigere bya Rt. Rev. Eria Paul Luzinda mu 2010 nga 10.
Ku bugenyi buno, Omulabirizi ayaniriziddwa omukubiriza wolukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwagga Mugumbule ngali ne Ssaabawolereza wa buganda Owek. Christpopher Bwanika abamutembeese okutuuka mu kkakalabizo lya Mukuumaddamula nebeesogga akafubo omutakiriziddwa bannamawulire.
Ye Omulabirizi Ssebaggala yeebazizza obwakabaka owlokufuuka ekyokulabirako naddala mu by’obulamu nga Ssaabasajja yakulembeddemu kubanga basobodde okukulaakulanya obulabirizi ngobwakabaka kwebalabira bwatyo neyebaza Katikkiro olwa kawefube gwatadde mu kulima emmwanyi.
Omulabirizi William Ssebagala abadde awerekeddwako mukyala we Tezira Ssebagala n’abaana baabwe babiri, yebazizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’okukwata omumuli mu kuwandiika Bayibuli y’ Oluganda, omulimu ogwakulemberwamu Omulabirizi Ssebaggala.