Owek. Charles Peter Mayiga, akubirizza abaami ba Kabaka okudibya endowooza ey’obwannakyewa ku buweereza bw’Obwakabaka, kubanga bonna balina ebika n’omugabo mu Bwakabaka.
Bino abyogeredde mu bizinga by’e Ssese ku Lwokusatu bw’abadde asisinkanye abaami ba Kabaka mu Ssaza eryo ku mbuga e Kalangala.
“Tolina ngeri gyoyinza kuwa bantu ssuubi nga buli kaseera okaaba. Buli mukulembeze abeera nagazibu bwegati gaalina okwetika era awangula yoyo atema empenda nabivunuka. Ffe nga abakulembeze olubeerera tuwe abantu essuubi, ggwe mulimu gwaffe omukulu, ” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.
Ono agambye nti singa Buganda yadda mu kuyimba ebizibu okuva mu 1986 Kabaka lweyakomawo singa terina weeri kuba okudda bwa Kabaka lyali ssuubi ddene nga kati emyaka 29 nga alamula.
Owek. Mayiga abasabye okukola emirimu nga bannakyewa wabula buno buvunaanyizibwa bwabwe bwennyini okuzza Buganda ku ntikko. Abalabudde ku nkola eno nti kuba ereetera abantu obutawa mirimu budde.
Owek. Mayiga abakuutidde okusala entotto okwanganga ebibasoomooza n’okufuna ebirowoozo eby’enkulaakulana era beerekereze okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa basobole okuleetawo enkulaakulana.
Alabudde abakulembeze bulijjo okwewala okukaaba ebizibu kuba bebalina okulaga abalala ekkubo naye bayiiye bwebasobola okugenda mu maaso n’okuzzaamu abantu amaanyi.
Abaami bamuloopedde ebikwata ku bitundu byabwe naddala ebikoleddwa, ate n’ebyo ebibasoomooza era nebawera okwang’anga ebizibu bino.