Owek. Charles Peter Mayiga akuutidde abavubuka wonna mu ggwanga okubeera abayiiya, abagumiikiriza, era abeesimbu bwebaba baagala okugenda mu maaso basobole okwekalakaanya.
Entanda Katikkiro Mayiga yagiwadde bweyabadde asisinkanye abavubuka abakulisitaayo okuva mu matendekero ag’enjawulo abeegattira mu kibiina ki National Christian Association.
“Obulamu buli emijiji ena, ogusooka nga tuli mabujje, ogw’okubiri ogw’obuvubuka bwemulimu, Ogw’okusajjakula awamu n’obukadde. Naye omujiji ogusinga okubeera omukulu gwe gw’obuvubuka. Byokola ku myaka gino byebisalawo onaaba otya nga osajjakudde. Mulaba abantu abakulu nga babagamba nti yeeyisa nga omwana omuto ekitegeeza nti alina byatakola,” Owek. Mayiga.
Yabasabye okulemerako mwebyo byebakola basobole okugenda mu maaso mwebyo byebakola kibayambe okulaakulana.
Owek. Mayiga yabasabye okuwaayo obudde bweba baagala okulaba ku magoba geebyo byebatandiseewo awatali kufaayo ku kiseera era nabasaba babeere beetegefu okuyiga bulijjo okugatta kwebyo byebamanyi.
Katikkiro Mayiga bano yabategeezezza nti buli kyebakola tebalina kwerabira buwangwa bwabwe mwebasibuka kuba kijja kubeera kyangu okusobola okukola emirimu emirala.
Bano Ow’omumbuga yabeebazizza olw’okunyweza obumu nga beegattira mu kibiina kyabwe era abawadde entanda esobola okubasomesa mu lugendo lwabwe olwobuvubuka.
Ye Minisita avunaanyizibwa ku bavubuka, emizannyo n’okwewummuzaamu, Owek. Henry Kiberu Ssekabembe yategeezezza nti ekibiina kino kiri mu nkwatagana naba Buganda Youth Council era nabasaba okukola buli kimu n’obukugu okusobola okuvuganya mu nsi.
Akulembeddemu abavubuka bano munnamateeka, Simon Ssenyonga yategeezezza nti ekibiina kino kyatandikibwa mu mwaka gwa 2018 nekigendererwa kyakulaba ng’ abavubuka bwebamaliriza okusoma babaako kyebeekolera wakati nga tebanafuna mirimu.