17.4 C
Los Angeles
December 7, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Katikkiro Mayiga avumiridde abantu abasaanyawo obutonde bw’ensi.

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga avumiridde abantu abagenda mu maaso n’okusaanyawo obutonde bw’ensi nga tewali abakuba ku mukono.

Bino Katikkiro Mayiga abyogedde bw’abadde ku lunaku lw’obutonde  obutasaanyizibwaawo ku kitebe ky’e ggombolola y’e Gombe.

Avumiridde abantu abagenda mu maaso n’okusaanyawo obutonde bw’ensi omuli; okuziba enzizi n’agamba nti amazzi kya bugagga okusinga okusima eby’obugagga ebiri mu ttaka ng’ abantu gye bakomye okweyongera ate obutonde bwensi gye bukomye okusaanyizibwawo.

Katikkiro Mayiga agenze mu maaso n’anokolayo ebifo ebisaanyiziddwawo okuli; Kawanda nga wano waali wajjudde entobazzi naye kati mayumba g’abantu ge gameruseewo, abamu ne bateekamu amakolero n’ebifo ebirala okuli; Kinnawataka, Kansanga, Lubigi, Nakivubo n’awalala.

Wano Katikkiro Mayiga w’asinzidde n’asaba waakiri wabeerewo Federo, basobole okwekuumira obutonde bw’ensi okusinga okubusaanyaawo nga tewali abagambako nga ne bamusigansimbi nabo bakoze kyamaanyi okulaba nga basaanyaawo obutonde bwensi.

Ssaabawaali w’e Gombe, Eric Sserugo yasabye abantu okukoma okusanyaawo obutonde bw’ensi.

Related posts

Eyatomera essomero lya Kasaka SS agguddwako emisango 4.

OUR REPORTER

Ensonga lwaki abasajja baagala nnyo abakazi abawemulira mu kitanda

OUR REPORTER

Abazigu basse omugagga wa “Washing Bay e Wakliso.

OUR REPORTER

Leave a Comment