Gav’t egunjeewo enteekateeka ennung’amu egereka emisaala gy’abakozi baayo .
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awadde Gavumenti eya wakati amagezi nti weetaagisawo enteekateeka y’okugereka emisaala gy’abakozi baayo.
Kino Mayiga agambye nti kyakuggyawo enjawukana mu bakozi baayo nga kino akyesigamizza ku keediimo k’abasomesa akagenda mu maaso ng’abasomesa amasomo g’embeera z’abantu (Arts) nga basaba okwongezebwa omusaala nga bwe kyakoleddwa ku bannaabwe abasomesa Ssaayansi.
Katikkiro Mayiga okwogera bino asinzidde mu kwogera kw’okuggulawo olutuula lwa Buganda olw’omulundi ogw’okuna mu Lukiiko olwa 29, olugenda mu maaso e Bulange Mmengo.