Kulw’okubiri Mayiga yalambudde emirimu egikolebwa mu ggombolola ya Mutuba III Makindye. Enteekateeka eno yatandikibwa n’ekigendererwa eky’okusiima n’okwebaza abaami ba Kabaka mu ggombolola eba ewangudde mu mpaka z’enkola y’emirimu gy’Obwakabaka.
Mayiga yasookodde ku Sir Jose Hotel e Gaba, eya Mw. Joseph Ssettuba, ate oluvannyuma ne yeeyongerayo ku Islamic Centre for Education and Research e Buziga.
Ab’eno abakuutidde okwefubako babeeko emirimu gye bakola, bafune ensimbi, batuukirize ebyetaago byabwe, Buganda edde ku ntikko.
Asabye abasuubuzi abagundidde okuyigiriza abaana baabwe enkola y’emirimu nga batandikira ku bifo ebisookerwako mu kkampuni, okusinga okubaleeta nga ba manaja nga tebamanyi nkola ku mitendera egisooka.
Yeebazizza nnyo Mw. Joseph Ssettuba, olw’enkolagana ennungi n’abantu, era n’asaba abantu okwewummuzangako ng’emirimu giwedde basaka amaanyi n’amagezi amaggya.
Katikkiro era akwasizza abaliko obulemu obugaali okubayambako mu kutambula kwabwe. Bino bibadde ku Islamic Center for Education and Research, e Buziga. Katikkiro akyalambula eggombolola ya Mutuba III Makindye.
Katikkiro awerekeddwako Oweek. Joseph Kawuki n’abaweereza n’Obwakabaka abalala