21.6 C
Los Angeles
September 26, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Katikkiro Mayiga: Tetujja kukkiriza kutiisibwatiisibwa wadde okujoogebwa ababba ettaka lya Kabaka .

Katikkiro Charles Peter Mayiga yategeezezza abakiise mu Lukiiko lwa Buganda nga bwebatagenda kukkiriza muntu yenna agezaako okubatiisatiisa nga ayagala okubba ettaka lya Buganda nagamba nti bajja kubakolako.

Bino Kamalabyonna  Mayiga yabyogeredde mu  Lukiiko lwa Buganda olutudde okuyisa embalirira ya Buganda ey’omwaka 2022/ 2023  mu Bulange Mmengo ku Mmande nga lukubiriziddwa Sipiika Partrick Luwaga Mugumbule.

” Tetujja kukkiriza kutiisibwatiisibwa wadde okujoogebwa ababba ettaka lya Kabaka, abasirikale tujja kubaleeta bakwate ababba ettaka lya Beene. Bwebakuwa okukuuma ettaka ly’embuga baba tebalikuwadde ng’omuntu. Waliwo abawalampa Buganda Land Board, mukikomye. ” Owek. Mayiga bweyategeezezza.

Owek. Mayiga wano weyasabidde abaami ba Kabaka awamu n’abantu abakuuma ebifo by’obuwangwa okwewala okwenyigira mu kibbattaka ekiriwo nabasaba bakozese amakubo amatongole bweba balina bamusigansimbi bebaleese okulaakulanya embuga z’ettaka ly’Omutanda.

Katikkiro Mayiga yategeezezza Obuganda nti Nnyinimu Ssaabasajja asiimye okulabikako eri abantu be nga aggulawo emisinde gy’Amazaalibwa ge  ku Ssande eno era nakakasa nti amazaalibwa ga Beene ag’omwaka guno gakukuzibwa nga July 17, omwaka guno mu Lubiri e Mmengo.

Owek. Mayiga yawadde gavumenti amagezi etunule mu nsengeka y’emisaala gy’abakozi bonna, okuli abasaayansi n’abasomesa embeera (Arts) kuba bonna bamugaso so si kusosowaza basaayansi kuba bano balinga musana nankuba kuba byonna byetaagisa.

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga abantu basaana okwongera okukozesa olulimi Oluganda naddala mu kiseera kino nga luteekeddwa ku kkampuni Kanoonya, “Google” kuba kyakuwa olulimi luno omukisa okwongera okukula.

Ono yasabye abantu obutekubagiza kubanga ssaabasajja gyali alamula nasaba abntu ba beene okusigala nga bali Bumu kubanga yengeri yokka Buganda mweyinza okuyita okudda ku ntikko.

Olukiiko luno lwetabiddwamu abantu abenjawulo okubadde bamanisita ba Ssaabasajja, abakulu bebitongole by’Obwakabaka, Abataka abakulu ab’obusolya nabalala.

Related posts

Abasubuzi mubutale b’ekyaye

OUR REPORTER

Ojok Oulanyah yemulugunya lwa Bobi Wine butamuwagira kukifo ky’omubaka wa Omoro.

OUR REPORTER

Paapa Francis asiimye Uganda.

OUR REPORTER

Leave a Comment