17 C
Los Angeles
September 25, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Katikkiro Mayiga yasabye abakulembeze beewale okukaaba ebizibu.

Owek.  Charles Peter Mayiga yasabye abantu naddala abakulembeze okukomya okukaaba ebizibu kuba bino bibalemesa okugenda mu maaso nebadda mu kwekubagiza nabasaba basitukiremu okubisalira amagezi mu buli ngeri esoboka.

Bino yabyogeredde mu Bulange e Mmengo bweyabadde atikkula Oluwalo olusobye mu buakdde 17 okuva  mu Banna ssingo  n’ekitongole kya bavubuka mu ssaza lye Butambala  nga bakulembeddwamu ssentebe wabwe Musa Lubega .

“Saagala byakwekwasa, bwoba onoonya bizibu ojja kubiraba mu buli mbeera mw’oli. Saagala nnyo bantu basoosoowaza bizibu kuba tewali atabirina, olina ku mbuulirira bwotambuza eggombola, empenda z’otema okuyita mu bizibu, omukyala akubuulidde atuuka ku bantu nababuulira Oluwalo nga tebamanyi kyebitegeeza naye tazze ngalo nsa,” Owek. Mayiga.

Ono yannyonnyodde nti omulembe Omutebi tegwagala kwekubagiza nakuyimba bizibu naye ekikulu kumanya bwetugenda mu maaso mu bukulembeze bwa Ssaabasajja Kabaka.

Owek. Mayiga yategeezezza  nti Buganda eyolekedde okudda ku ntikko kuba Kabaka bwayogera abantu bawulira era nabakungu be bwebabakowoola babanukula olwo ebintu nebitambula bulungi.

Kamalabyonna yategeezezza nti Kabaka Mutebi wa byafaayo nga ataddewo ebintu ebyafaayo nga bajjajjabe bwataddewo ebintu ebyenkizo era nakulemberamu okuzzaawo ebya Buganda ebyali biyiise nga akubiriza abantu okulima emmwaanyi bagobe obwavu, okwetangira Mukenenya babeere balamu awamu n’ enteekateeka endala.

Ono era yeebazizza abo bonna abeetaba mu misinde gy’Amazaalibwa era nakunga abantu ba Buganda okuwagira kampuni ya Airtel kuba eyambye nnyo okuvujjirira enteekateeka za Buganda ez’enjawulo.

Ate Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’Ebitundu mu Buganda, Owek. Joseph Kawuki  yebaziza abantu ba Ssaabasajja abakiise embuga olw’okufaayo okumanya ennono zaabwe ate nebazituukiriza nabakubiriza nga bakola okukulembeza obumalirivu n’obwerufu.

Omwami wa Kabaka atwala essaza Ssingo, Mukwenda David Nantaja, yaloopye embuga abantu ba Ssaabasajja abawaddeyo ettaka kuzimbibweko embuga okwongera okunnyika emirimu gy’Obwakabaka mu bantu.

Eggombolola ezikiise kubaddeko Mutuba 4 Ntwetwe , Mutuba 15 Kyankwanzi  ,Mutuba 10 Watuba , ssaabaddu Ngando nendala era abaami ba ssaabasajja abamukulembererako eggombolola zino bawozeza olutabaalo omuli ebituukiddwako nebisoomozo kyokka nebawera  okuweereza Ssaabasajja awatali kumutiiririra.

Related posts

WHAT A WIN! PAIDHA CLIENT BANGS 180M FROM 1K

OUR REPORTER

JULIANA AKOMYEWO NAMULIRO.

OUR REPORTER

Abasajja 35 bibawenddeko oluvannyuma lwa DNA.

OUR REPORTER

Leave a Comment