Abaana babiri abawala bagudde mu ddaamu y’amazzi nebafiiramu ku kyalo Nakatooke mu gombolola ye Bukango mu district ye Bukomansimbi.
Namuyanja Bridget 16 abadde asena amazzi ekidomola ky’abadde asena nekimusika n’asirittuka naagwa mu ddaamu, olwo Namirimu Gertrude 8 nagezaako okumutaasa naye nagwayo.
Abaana bombi banju emu eya Emmanuel Ssenyonjo e Nakatooke.
Abaddukirize bewunyizza ekitutte abaana ku luzzi so ng’enkuba ebadde yakakya, nga ne waka amazzi gabaddewo mu bungi.
Abatuuze bawanjagidde bannyini ddaamu okuziteekako enkomera, kitaase abantu abalala okuzigwamu.