Ekikangabwa kigudde mu Zzooni ye Yoka e Bukasa mu Makindye Divizoni, mu Kampala abafimire bataano bwebasirikidde mu nnabambula w’omuliro akutte amaka gaabwe mu kiro ekyakeesezza olwa leero.
Poliisi egamba nti abafudde kuliko taata, maama n’abaana babwe abasatu nga omuliro guno gwatandise ku ssaawa 8 ez’ekiro nga beebase.
Abagenzi kuliko; Ssemaka Steven Luyomba ow’emyaka 50, mukyala we Nafula Doreen ow’emyka 35, abaana okuli Lubega Sumei, 16, Naiga Edith 15 n’omulala amanyidwa nga Andrew.
“Kigambibwa nti omuliro gwatandikidde ku musubawa ogwalekedde mu nnyumba ya Ogola Charles akungaanya Pulaasitiika negutuuka mu nnyumba ya Luyomba negumutta wamu naba famire ye bonna,” Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirilaano, Luke Owoyesigire bw’ategeezezza.
Owoyesigire agamba nti wadde poliisi y’Abazinyamooto yatuusewo nezikiza omuliro naye kyabadde kikeerezi, baasanze ab’ennyumba ya Luyomba bamaze okufa.
Ono asabye abantu okwegendereza ebintu byonna ebivaako omuliro ng’emisubaawa era bakomye okugireka nga gyaaka awatali muntu mulala ayinza kuzizikiza kuba zino zaabulabe naddala mu kiro.