Abantu 6 bafiiriddewo mbulaga n’abalala 11 ne batwalibwa mu malwaliro nga bali mu mbeera mbi, mmotoka ekika kya Fuso namba UBB 895H ebadde eva eKayunga bw’eremeredde omugoba waayo neyingirira taxi namba UBL 838U ebadde eva e Kampala ng’edda Mbale.
Akabenje kano kagudde ku kyalo Nile Village okumpi ne kampuni ya Nile Breweries e Njeru mu district y’e Buikwe ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja.
Abafudde tebanategerekeka mannya kyokka nga bonna babadde basaabaze mu taxi.
Abalumiziddwa kutegerekeseeko Adong Merab myaka 20, Mandu Elvis 26 n’omulala ategerekeseeko erya Kato, ate ng’abalala 8 tebanategerekeka mannya olwokuba babadde tebasobola kwogera.
Abafudde bonna batwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Jinja, ate abalumiziddwa abamu batwaliddwa mu ly’e Jinja ne Nile international Hospital e Njeru.
Omwogezi wa police mu kitundu ekya Ssezibwa Butoto Helen ategezezza nti ekivuddeko akabenje tekinategeerekeka.