Poliisi e Kiboga eri ku muyiggo gw’abasajja abagambibwa okutta Asikaali ku kibiina ky’ obweggasi ekya Bukomero Premier SACCO oluvannyuma lw’okumusindirira amasasi agawerera ddala.
Bino byabaddewo ku Ssande e Kiboga era okusinziira ku bakulu mu poliisi abasajja bano babadde n’emmundu era wano balumbyewo ku ssaawa 10 ez’olweggulo era nebawamba b’ Asikaali babiri bebasanzeewo.
“Wano bakubye Asikaali eyabadde n’emmundu ng’ono ye Badiru Tumwine nebamuttirawo n’oluvannyuma emmundu ye nebagitwala,” Ekiwandiiko okuva mu poliisi bw’ekisomye.
Poliisi egamba mukiseera kino temanyi batemu bano gyebakutte wadde nga okunoonyereza kukyagenda mu maaso ku nsonga eno.
Kino kyabadde kyakabaawo era abasajja ababadde n’emmundu nebalumba poliisi y’e Busiika nebatta abapoliisi ababaddewo era nebatwala emmundu.
Asikaali eyattiddwa yabadde akolera mu kkampuni ya 1980 Kabarole Youth War Veteran Limited nga mutuuze wa Kakunyu A LC 1, mu ttawuni kkanso ye Bukomero mu disitulikiti ye Kiboga.
Poliisi egamba nti oluvannyuma lw’ abatuuze okubatemyako bagezezaako okuwondera abatemu bano naye nebalemwa okumanya awatuufu webakutte naye bakola buli kimu okununula emmundu eyatwaliddwa n’okubakwata bavunaanibwe.
Poliisi mukitundu kino eyungudde abawanvu n’ Abampi okusobola okunoonyereza abatemu bano era abakugu bafunye buli kyebeetaaga okuva mukifo kino awabadde ettemu lino.
Leero ku Lwokubiri, Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga agamba nti wadde ekigendererwa kya bano tekinamanyika naye ebiriwo biraga nti bababdde baagala kutwala mmundu.