17 C
Los Angeles
September 25, 2023
Image default
AmawulireEbyobusubuziFeatured

KITALO! Dr. Paul Ssemogerere afudde

Eyaliko Ssenkaggale wa Democratic  Party (DP), Dr Paul Kawanga Ssemogerere afiiridde mu makaage e Lubaga ku myaka 90.

Dr Ssemwogerere yakulembera DP okugitwala mu kalulu ka 1980, akawangulwa Dr Apollo Milton Obote wadde nga   aba DP  baawakanya ebyavaamu nga bagamba nti obuwanguzi bw’alina kubeera bubwe naye nebunyagibwa.

Ssemogerere afiiridde mu makaage gyaggyiddwa enkya yaleero natwalibwa mu ddwaliro e Lubaga.

Ebyava mu kalulu byanyiiza bangi era abantu omwali Yoweri Kaguta Museveni baakwata emmundu nebagenda mu nsiko okulwanyisa Obote nga bamulumiriza okubba obululu.

Museveni yatondawo ekibiina ki  PRA (People’s Resistance Army) ekyavaamu NRA (National Resistance Army) nga alwana okuggyako Obote.

Waliwo n’abalala okwali  Andrew Lutakome Kayiira nekibiina kye ki Uganda Freedom Movement.

Wabula Ssemogerere wadde akalulu akaali kabbiddwa kaali kake yagaana okwegatta ku bagenda mu nsiko nga agamba nti olutalo lwali lujja kutwala obulamu bw’abantu abawerako  nasaba bateese buteesa.

Gyebyagwera nga olutalo olwaleeta Museveni mu buyinza lufiiriddemu abantu abawera emitwalo 30 wakati wa 1981 ne 1986 weyawambira Kampala.

Oluvannyuma Museveni yalonda Ssemogerere nga Minisita w’ensonga ez’omunda okuva 1986 okutuuka mu 1988 ng’akabonero ak’okugezaako okugatta bannansi ab’endowooza ez’enjawulo.

Ssemwogerere yaweereza mu bifo ebyenjawulo mu gavumenti ya Pulezidenti Museveni wabula nga alwana nnyo okulaba nti ebibiina by’obufuzi biddawo mu ggwanga era yawaaba emisango egiwera mu kkooti ku nsonga eno.

Mu mwaka gwa 1995 yava mu gavumenti ya Museveni era bwatyo neyeesimbawo mu kalulu ka 1996 wabula era akalulu nebakamukuba.

Ssemogerere yalwana nnyo  okusigala nga akuumira awamu DP eyali eyongera okwetemamu buli lukya era obukulembeze bwe obw’emyaka 25 nga ye Ssenkaggale bwakola kyamaanyi.

Oluvannyuma obwa Ssenkaggale yabuwa munywanyi we  era eyaliko Mmeeya wa Kampala, John Ssebaana Kizito.

Related posts

FORTEBET ROCKS BWERA, KASESE, MPONDWE, HIMA WITH ‘A MILLION GIFTS’.

OUR REPORTER

 URA basaanyizzaawo emmaali etalina sitampu ya Musolo.

OUR REPORTER

KITALO! Br.Fr.Annattooli Waswa afudde.

OUR REPORTER

Leave a Comment