Munnabyanjigiriza abadde nnyini masomero ga Sir Apollo Kaggwa Primary Hajji Ssewava Musa avudde mu bulamu bw’ensi.
Hajji Ssewava Musa afiridde mu ddwaliro Lya IHK e Namuwongo ku saawa nga musanvu ez’ekiro.
Senkulu we somero lya Sir Apollo e Mengo, Musoke Geoffrey ne muganda w’omugenzi ategerekeseeko erya Deborah bategezezza nti Hajji Ssewava yakubiddwa ekirwadde kya Stroke ng’avuga mmotoka ye akawungeezi kajjo, n’addusibwa mu ddwaliro mu ddwaliro lya IHK gy’afiiridde.
Okusinzira ku booluganda Hajji Ssewava Musa wakuziikibwa olwaleero e Buloba ku luguudo lw’e Mityana ku saawa kumi ez’olweggulo.
Baakusooka kumusaalira ku Masjid Fauz Bukesa ku ssaawa mukaga ez’emisana.
Hajji Ssewava Musa yabadde nnyini masomero okuli Sir Appolo Kaggwa Mengo, sir Appolo Kaggwa Old Kampala, Sir Appolo Kaggwa Nakasero, Hilltop primary school Kawempe, Kyengera n’amalala