Omuserikale wa Poliisi abadde avuga emmotoka ya minisitule y’ensonga zomunda namba UG 0337G, ayitibwa PC namba No 64670 John Oginere emulemeredde n’akoona ppiki emubadde mu maaso.
Oluvannyuma owa ppiki ategeerekese nga Bob Odongo abadde avuga Bajaj Boxer namba UEU 841C, naye n’akoona omuserikale wa ttulafiki abadde ku luguudo ng’akola emirumu gye.
Faridah Nampiima omwogezi wa Poliisi y’ebidduka mu ggwanga ategeezezza nti omugenzi ye PC Micah Muhindo, era ng’afiiridde mu kkubo bw’abadde atwalibwa mu ddwaliro lya Lira Regional Referral Hospital, okufuna obujjanjabi.
Bino byabaddewo kumakya ku Lwokuna mu kifo ekimanyiddwa nga Adwila ekiri ku luguudo oluva e Soroti okudda e Lira.
Poliisi etegeezezza nti ddereeva w’emmotoka evuddeko akabenje akwatiddwa n’aggalirwa ku Poliisi y’e Lira songa owa ppiki Odongo, akyajjanjabibwa mu ddwaliro lya Lira nga n’okunoonyereza ku kivuddeko akabenja kano kugenda mu maaso.
Waliwo n’omuserikale wa ttulafiki omulala eyategeerekese nga Amakobo, akolera ku Poliisi y’oku Jinja Road, eyakooneddwa emmotoka okumpi n’ebitaala by’oku Spears e Nakawa ku Lwokusatu era n’amenyeka amagulu.
Poliisi wano weyasinzidde n’esaba abavuzi b’ebidduka okuvuga n’obuvunaanyizibwa naddala mu biseera by’ennaku enkulu okusobola okwewala obubenje.