Kituufu abaagalana okukola emirimu okusobola okutuukirizza ebiruubirirwa byabwe naye singa omu alwayo kyandireetera amaka okusajjuka naddala ku nsonga z’omukwano anti bw’alowooza mukaboozi nga talina. Bwatandikira mu kukafuna nebimutama ng’omuyimbi Maureen Nantume bweyayimba “abakozi basafali bantamye” nga ategeeza nti sikyangu kubeerawo ng’omuntu tafunye ssanyu lya mukwano.
Kojja Musa Kateregga ow’e Gayaza agamba nti kyandibadde kirungi omuntu bwaba nga ddala mukulu n’afuna essanyu ly’ekisenge ate n’akkuta akaboozi.
Obulabe obuli mukukola emirimu gye safali.
Ennyonta y’akaboozi, kojja agamba nti omwagalwa asobola okufuna ennyonta n’ayaggayagga n’akirako ekisolo ekirunduzze nga talina amutaasa kumugya mu mbeera emutawaanya okusobola okukakkana.
Okubaliga. Agamba nti kino abalekeddwawo oba n’abo abagenda essafali batuuka ekiseera nga tebakyasobola kwebeera ne basalawo okuganza ebali.
Amazzi okukuyitamu. Ayongeddeko nti bwaba omukazi atuuka ekiseera ag’emugga nga gamuyitamu naddala singa abeera nga nakiyanja.
Ebbuba; agamba nti batandika okwekolako ebbuba erisusse nga buli omu teyeesiga munne atandika okumulowooleza okwendeguza kino nakyo kitabula amaka.
Okuzibikira enseke; agamba enseke zisobola okuzibikiramu amazzi amakyafu, amazzi gafuuka makyafu singa gabeera tegafulumye oba singa abeera teyetabye mu kaboozi.