Omwogezi w’ekibiina Kya National Unity Platform era omubaka wa Nakawa East mu palamenti Joel Ssenyonyi avuddeyo n’awakanya engambo ezigamba nti gavumenti ya pulezidenti Museveni erina omukono munenne okulaba ng’ababaka ba opozisition abawangula naddala aba NUP wano mu Buganda nga tebajibwayo mu palamenti, nga batya nti mukuddamu okulonda, pulezidenti w’ekibiina kino Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ayinza okukozesa omukisa guno ne yesimbawo nadda mu palamenti nga bwe yakola ku Mike Ssebalu mu kulonda okwamuleeta mu palamenti.
Ssenyonyi agamba nti emisango gy’okulonda bawabeera omuntu n’akakiiko k’ebyokulonda kubanga ke kategeka okulonda n’okulangirira omuwanguzi abeera atwaluddwa mu kooti nga mumbeera eyo akakiiko kalina okwewozako mu bye kaakola okulaga nti byagoberera amateeka g’okulonda, n’ategeeza nti kino kyekiviriddeko abantu abamu okufuna endowooza nti gavumenti erina omukono mu misango egiri mu kooti.
Abagyeyo emisango n’egigobeddwa.
Prosscivia Ssalam Musumba: Ono y’amyuuka sentebe wa FDC mu bitundu bye Busoga, yavuganya n’eyali spiika wa palamenti Rebecca Alitwala Kadaga mu kalulu k’omubaka omukyaala owa disitulikiti ye kamuli, wabula n’awangulwa. Musumba yaddukira mu kooti enkulu e Jinja ng’awakanya obuwanguzi bwa Kadaga.
Ensonda zatutegeeza ng’ono bwe yali akozesebwa abamu kubanene mu kibiina kya NRM n’ekigendererwa eky’okulemesa Kadaga obwa spiika. Okulonda spiika bwe kwaggwa nga Kadaga awanguddwa, Musumba yagyayo omusango n’ategeeza nga bwe yali ayitirizza okufuna obubaka obumutisatisa okumutuusako obulabe omuli n’okumwokera mu nnyumba, kwe kusalawo okugyayo omusango n’okukuuma ekitiibwa Kya Busoga.
Ogwa Sseggirinya gugobeddwa:
Ku lw’okubiri lwa wiiki ewedde, kooti enkulu mu Kampala yagobye omusango gwa Suliman Kidandala mwe yali yawabira omubaka Muhammed Sseggirinya eyalangirirwa kukya Kawempe North ng’amulanga butaba na buyigirize bumala. Omulamuzi wa kooti eno Hernrietta Wolayo yategezezza oludda oluwabi nga bwe lwalemererwa okuwa Sseggirinya empapula eziraga nti yali amuwangudde mu kooti bwe yali mu kkomera e Kitalya. Kidandala yawakanyizza ensala y’omulamuzi n’ategeeza nga bwagenda okujulira mu kooti ensukkulumu.
Enfunda eziwera Kidandala abaddenga alumiriza Sseggirinya nga bwali mbega wa gavumenti mu NUP era gavumenti ekoze kinene okulaba ng’omusango gugobwa. Ono yagambye nti,yadde nga Sseggirinya yagaliddwa kumisango gye bijambuya, naye muntu wa gavumenti era buli kyakola mu Kawempe kirimu omukono gwa gavumenti.
Nassolo alidde 200 nagyayo:
Eugenia Nassolo n’abalala bavuganya ne Aloysius Mukasa mu kifo Ky’omubaka wa Lubaga South, kyokka Mukasa n’abawangula. Nassolo yaddukira mu kooti enkulu mu Kampala ng’alumiriza Aloysius Mukasa obutaba na buyigirize bumala awamu n’okujingirira ebiwandiiko byobuyigirize.
Wiiki ewedde Nassolo yagyeeyo omusango gwe yali yawaaba, ensonda okuva munkambi ya Nassolo zategezezza nti omuntu wabwe okugyayo omusango mwabaddemu abanene mu gavumenti abakolagana ne Mukasa ababadde bayitirizza okumupeeka okugyayo omusango n’okumusubiza ebifo ebisava, wabula waliwo abategezezza nti sente obukadde 200 palamenti zeyawa Mukasa okuggula mmotoka ze yawadde Nassolo okusobola okuva mukintu.