17 C
Los Angeles
September 25, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Kkooti ekendeezezza ssente ezasabwa Besigye okweyimirirwa.

Kkooti enkulu mu Kampala, ekendereza Dr. Kizza Besigye ku ssente z’ akakalu zeyali asabiddwa, kkooti ya Buganda Road ku misango gy’okukuma mu bantu omuliro.

Omulamuzi wa kkooti eno, Micheal Elubu ku Mmande zino yazisaze okuva ku bukadde 30 ezaali zasabwa omulamuzi, Siena Owomugisha nazizza ku bukadde 3.

Elubu bw’abadde awa ensala ye agambye nti akakalu k’obukadde 30 nga zabuliwo zibeera nnyingi nnyo bwogerageranya n’omusango oguvunaanwa Dr. Besigye.

Kino kiddiridde okukwatibwa kwa Dr. Besigye nga May 24 bweyali ku Arua Park mu Kampala nga yeekalakaasa okuwakanya ebbeeyi y’ebintu eyeekanamye mu ggwanga, gavumenti nelemwa okubaako kyekola.

Oluvannyuma yasimbibwa  mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road, Siena Owomugisha nasomerwa omusango gw’okukuma mu bantu omuliro nga May 25 , Dr. Besigye yasaba okweyimirirwa era omulamuzi namulagira asasule obukadde 30 ez’obuliwo.

Dr. Besigye yeemulugunya nti ssente tezaali zabwenkanya era nga zigendereddwamu okumulemesa kweyimirirwa nasalawo asindikibwe mu kkomera e Luzira. Yalagira bannamateeka be abakulemberwa Erias Lukwago ne Ivan Bwowe okujjulira ku ssente zino obukadde 30 mu kkooti enkulu.

Related posts

Ennyanja ya Kabaka mu Ndeeba ewezezza emyaka 136

OUR REPORTER

Pulezidenti Museveni asisinkanye Kyabazinga we Busoga.

OUR REPORTER

Nze sitiisatiisangako Lukwago –Kyofatogabye.

OUR REPORTER

Leave a Comment