Omubaka wa Agule County mu disitulikiti y’e Pallisa,Polycarp Ogwari,kkooti y’e Mbale ejulirwaamu emuggye mu palamenti nga kigambibwa nti empapula ze ez’obuyigirize njingirire.
Kiddiridde Ochwa David bwe baavuganya ku kifo kino,wadde yawangulwa okuddukira mu kkooti enjulirwamu e Kampala eyalagira omusango guzzibwe e Mbale.
Omulamuzi wa kkooti ejulirwaamu e Mbale ,Kazibwe Kawime ng’awa ensala,yagambye nti okunoonyereza kkooti kw’ekoze kizuuliddwa ng’omubaka Polycarp Ogwari mu palamenti aliyo mu bumenyi bw’amateekab kuba empapula z’alina tezimanyiddwa mu UNEB era talina bbaluwa ya S6 n’alagira akakiiko k’ebyokulonda kaddemu okutegeka okulonda.
Wabula omubaka bwe yafulumye kkooti ekiruyi yakimalidde ku munnamawulire wa Faith FM Dumbulu Naziru n’amuggunda agakonde.Ono yaddukidde ku poliisi enkulu e Mbale n’aggulawo omusango ku SD REF 129/15/12/2022.