Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) agamba ekya Museveni okukuza mutabani we Lt Gen Muhoozi Kainerugaba namutuusa ku ddaala lya Genero omujjuvu kigendereddwamu kumusembereza ntebe ya bwapulezidenti.
Bino Kyagulanyi yabyogedde wakayita ssaawa busaawa nga Pulezidenti Museveni agobye mutabani we ku kifo ky’omudduumizi w’eggye ly’okuttaka wabula ate namukuza okufuuka Genero.
Kainerugaba, Museveni yamusikizza Lt Gen Kayanja Muhanga.
Bweyabadde ayogera ku nkyukakyuka zino, Kyagulanyi yagambye nti, “Oluvannyuma lw’okuteeka obubaka obw’ekiralu ku Twitter natiisatiisa Kenya ku Mmande, Pulezidenti Museveni asazeewo awe mutabani we ekirabo kya Genero. Ono mu bwangu agenda kuwummuzibwa akakatibwe ku bannansi nga Pulezidenti w’eggwanga, abo bonna abaagaliza Uganda ebirungi kino balina okukigaana.”
Kyagulanyi agamba nti Museveni ne mutabani we bebali emabega w’okulinyirira eddembe ly’obuntu era nga bebasinga okukifunamu kuba Uganda baagala gitambuza nga bwebagala.
Ono asabye amawanga g’abazungu okukomya okuteeka ssente mu gavumenti ya Museveni kuba tezigasa bannansi wabula gavumenti ezikozesa kubatulugunya nga kino kirina okukoma okutaasa ebiseera bya Uganda eby’omu maaso.
Enkyukakyuka zino ezaakoleddwa zavudde ku Muhoozi okusinziira ku mutimbagano gwe ogwa Twitter nategeeza nti ye n’abajaasi be beetaaga wiiki 2 zokka nga bamaze okuwamba ekibuga ekikulu ekya Kenya ki Nairobi.
Kino kyatabudde abantu abawerako era nga bangi basoose kulowooza nti waliwo abayingidde mu kibanja kye wabula oluvannyuma yakakasizza nti obubaka buno yeyabutaddeyo naye yabadde asaaga.