14.3 C
Los Angeles
April 2, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Kyagulanyi  atabukidde ab’oludda oluvuganya abanenya NUP ku nfa y’omuyizi wa UCU eyafiira e Makerere.

Omukulembeze  w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu atabukidde ab’oludda oluvuganya olw’okusonga mu kibiina kye okuvunaanyizibwa obutereevu ku nfa y’omuyizi wa Uganda Christian University (UCU), Betungura Bewatte.

Bewatte eyali asoma mu mwaka gwe ogw’okubiri ku UCU, yafumitiddwa  ekiso nga abawagizi beyeesimbye ku kkaadi ya NUP bwebaali balemesa munnakibiina ki Forum for Democratic Change (FDC),  Justus Tukamushaba okuyingira mu kisaawe kya Makerere Rugby Grounds.

Abakulembeze mu bibiina eby’enjawulo ku ludda oluvuganya omuli ne Justice Forum(JEEMA) bakyanenya NUP olw’okulemwa okukoma ku bawagizi baakyo.

Kyagulanyi agamba nti kyansonyi okulaba nti bannabwe ku ludda oluvuganya babanenya ku kino kyokka nga bakimanyi nti gavumenti esobola bulungi okubeera emabega w’olukwe luno.

“Ekisinga okumalamu amaanyi kwekuba nti abantu  abali ku ludda olumu naffe ate batunenya olw’okufa kw’omwana ono nga tewali kunoonyereza kwonna kwali kukoleddwa,” Kyagulanyi bw’agambye.

Okusinziira ku Bobi Wine emu yeemu ku ngeri gavumenti gyeyagala okuteekawo enjawukana mu bagivuganya awamu nokwonoona erinnya lya NUP nga ebalaga nga abantu abaagala obuvuyo.

Kyagulanyi yasabye bannayuganda okusigala nga amaaso gabwe bagakuumira ku mulabe gwebalina kuba ali omu nga eby’okwetematemamu nga abavuganya tebirina gwebigenda kuyamba kuwangula Pulezidenti Museveni.

Bobi Wine agamba nti gavumenti ekyaleeta obutego bungi okulaba nti eyongera okwawula mu bantu abagivuganya esobole okwenywereza mu buyinza.

Ono yakubagiza abafamire awamu n’ ettendekero lya UCU era nasaba abakwatibwako okukola kyonna ekisoboka ebikolwa bwebiti bireme kuddamu kulabikira mu bayizi.

Related posts

FORTEBET THRILLS KARUMA, BWEYALE, KIGUMBA, KIRYANDONGO CUSTOMERS ON WORLD CUP FINAL.

OUR REPORTER

Abakyala boogedde ku kitabo kya Nnabagereka.

OUR REPORTER

Omumbejja Nassolo alabudde abazadde ku bannabyabufuzi .

OUR REPORTER

Leave a Comment