Akulira ekibiina ki National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) azzeemu buto okubanja abawagizi be bagamba nti bano babuzibwawo ab’ebyokwerinda.
Abamu ku bano Kyagulanyi agamba nti batwalibwa mu biseera by’okuwenja akalulu ka 2021 k’obwapulezidenti ate abalala bawambibwa mu myezi egyaddako nga akalulu kawedde.
Kyagulanyi ategeezezza nti bangi ku bano tebaddangamu kulabikako era ab’enganda zabwe essuubi litandise okubaggwamu nga tebamanyi oba battibwa oba bakyali balamu.
Ng’ ayita ku mutimbagano, Kyagulanyi asabye ab’obuyinza okukomyawo abawagizi bano era obwedda aleeta omu kw’omu nalaga ebimukwatako n’engeri gyeyawambibwa.
“John Ddamulira, wa myaka 50 yalina edduuka ly’ ebizimbisibwa, Yakawatibwa ab’ebyokwerinda okuva ku dduuka lye ewa Kisekka mu Novemba 2020, okutuusa kati tewali amanyi gyali. Mutubuulire aliwa?” Kyagulanyi bwe yagambye.
Mu mwaka 2020, Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango yakakasa nti Damulira n’abantu abalala poliisi yali ebakutte olw’okwenyigira mu kwekalakaasa okwali mu Kampala n’ebitundu ebirilaanyewo.
Onyango yawakanya eky’okuba nti bano baali batulugunyiziddwa ebitagambika era yagaana okwogera ebifo webaali bakuumirwa.
“Kituufu waliwo abakwatiddwa, sigenda kubabuulira wetubakuumira naye tewali yatulugunyiziddwa,” Onyango bwe yategeeza mukiseera ekyo.
Kyagulanyi yannyonnyodde nti Damulira yeyali alabirira famire ye naye kati emyaka giyise ebiri nga tebamanyi gy’ali.
Aba NUP era baagala gavumenti ereete John Bosco Kibalama eyakwatibwa nga June 3, 2019 okuva e Gayaza nga yatwalibwa abasajja abaali bakutte emmundu.
Abalala kuliko Musisi Mboowa 32, Ssemuddu Michael, Musisi Mboowa 32, Martin Lukwago 32 awamu n’abalala nga bonna tebamanyi gyebali wadde ab’enganda zabwe okubawuliza.
Kinajjukirwa nti okuva mu mwaka gwa 2020, aba NUP babadde babanja abawagizi babwe bebagamba nti bawambibwa ab’ebyokwerinda.
Mu nteekateeka eno, bano bateekawo ekitabo nebawandiika ab’ enganda abalina abantu babwe abaali babuzibwawo era aba NUP bagamba nti ab’enganda awamu n’abazadde bangi babatuukirira oluvannyuma lw’akalulu nga banoonya abaana babwe.
Bano bafulumya olukalala lw’abantu 243 mu 2021 abaali bazze bakwatibwa wadde webafulumiza olukalala luno abaali babuziddwawo baali bawera 458.
Oluvannyuma Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga, Gen Jeje Odongo yaleeta olukalala lw’amanya 177 olw’abantu abaali tebalabikako nalulaga mu Palamenti wabula Kyagulanyi yategeeza nti kyaliko abantu 89 bokka kwabo bebaali banoonya.
Ekyaddirira, Pulezidenti Museveni yategeeza nga abantu bano bwebaali mu mikono gy’abebyokwerinda oluvannyuma baali bakuyimbulwa.
Abamu ku bano baleetebwa mu kkooti nebayimbulwa ku kakalu ka kkooti, abalala ku ka poliisi ate abalala nebayimbulwa awatali kuvunaanwa musango gwonna.