23.6 C
Los Angeles
September 23, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Kyagulanyi  yaganye  okuteesa ne president Museven.

President wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu azeemu okukikaatiriza nti ekibiina kya NUP tekisobola kuteesa na President wéggwanga Yoweri Kaguta Museveni, okuggyako ngábagamba kimu nti agenda kuwaayo obuyiza naye ekitali ekyo tebasobola kutuula ku mmezza emu.

Kyagulanyi abadde ku kitebe kya NUP ekipya e Makerere Kavule  mu lukungaana lwékibiina olwa buli mwaka olwókulambika bannakibiina olumanyiddwa nga Kunga Uganda.

Robert Kyagulanyi Ssentamu alungamizza nti abayina endowooza eyokuteesa ne President Museveni nti yabwe ngábantu , era n’agamba nti bwewabaabawo omuntu eyateesa ne President Museveni okuyimbula ababaka  Ssegirnya Muhammad owa Kawempe North ne Allan Ssewanyana owa Makindye west nábasibe abalala nti yabikola yekka ngómuntu sso ssi ku lwékibiina.

Agambye nti tebalina kyebayinza kuteesa kubanga tebalina musango gwebazza, okuggyako okuwakanya government eri mu buyinza eya NRM.

Robert Kyagulanyi Ssentamu era akangudde ku ddoboozi olw’abantu abeefuula nti bawagizi bakibiina kya NUP nebadda ku bakulembeze mu kibiina nebabakolokota ku bintu byebatalinaako mitwe na magulu.

“omuntu afuna mu ntalo ezitandikibwawo bannakibiina ye government” – Kyagulanyi

Agambye nti entalo eziwulirwa mu NUP waliwo aziseesaamu era yaleetedde bannakibiina abamu okukyusa obwanga nebabuggya kukuvumirira ebikyamu ebikolebwa ku bantu babwe, ate omudumu nebagutunuuliza abakulu mu kibiina kyagambye nti kikyamu nnyo era kizza kibiina mabega.

Akulira oludda oluvuganya government mu parliament era omubaka wa Nyendo Mukungwe Mathias Mpuuga Nsamba alabudde abavubuka okukomya okweyisa ng’obunyonyi bunandibanga nga butuula butuuzi nebusalawo  okutabangula amazzi.

Abasabye okukulembeza empisa nga bagala enkyukakyuka mu ggwanga.

Omubaka wa Manjiya County mu district ye Bududa John Baptist Nambeshe alabudde bannakibiina okwewala obutalotalo wabula bakolere wamu okusobola okwenunula.

Olukungaana luno lwetabyemu bannakibiina bangi ddala okuli nábabaka ba parliament era enkuba efudembye ebaggwereddeko.

Related posts

Ssaabasajja asiimye obuweereza bwa Dr.Paul Ssemogerere.

OUR REPORTER

Bakkansala b’e Kira obukiikko babulondedde ku muddumu gwa mmundu.

OUR REPORTER

KITALO! Dr. Paul Ssemogerere afudde

OUR REPORTER

Leave a Comment