9.9 C
Los Angeles
March 29, 2023
Image default
AmawulireEssanyuFeatured

Leero amatikkira ga Makerere University  wegatandise .

Amatikkira ga Makerere University ag’omulundi ogw’e 72 gatandika leero nga May 23 gaggwe ku Lwokutaano nga May 27, 2022.

Okusinziira ku kiwandiiko akyafulumiziddwa akulira ebyensoma mu yunivasite eno, Alfred Namoah Masike, abayizi abasuubirwa okutikkirwa bali 12,474 nga ku bano 6,538 bawala nga bakiikirira ebitundu 52 ku 100 ate abalenzi bali 5,936 bye bitundu 48 ku 100.

Kino kitegeeza nti omuwendo gw’abayizi abalenzi gusse ekitundu 1 ku 100 okuva ku gw’abaatikkirwa ku matikkira ga 2021 ng’omugatte baali, 12,550 nga kuliko abawala 6,433 (by’ebotundu 51 ku 100) ate abalenzi baali 6,117 (by’ebitundu 49 ku 100).

Leero ku Mmande amatikkira gatandise n’abayizi b’ettendekero mu bya ssaayansi (College of Natural Sciences), ery’abasawo (College of Health Sciences) n’erya bannamateeka (School of law).

Pulezidenti Museveni y’asuubirwa okuba omugenyi omukulu ku mukolo guno ng’awerekeddwaako mukyala we era Minisita w’ebyenjigiriza, Janet Museveni.

Related posts

 URA basaanyizzaawo emmaali etalina sitampu ya Musolo.

OUR REPORTER

Poliisi eri ku muyiggo gwa bakifeesi 20 abasse munnamagye

OUR REPORTER

Ensonga lwaki abasajja baagala nnyo abakazi abawemulira mu kitanda

OUR REPORTER

Leave a Comment