Joy Nume 55, yaliko mu Poliisi naye kati ye Maneja wa Joy catering Services abafumba emmere ku mikolo.
Akozesa abantu 30 wadde nga ku mikolo eminene afunayo abamuyamba abasoba mu 100 okusinziira ku bunene bwagwo.
Alaga bwe yakwasaganya obulamu ng’avudde mu Poliisi ne bw’asobodde okututumuka. Ndi muwala w’omugenzi Nume e Buwenge, Kagoma mu disitulikiti y’e Jinja.
Nakoma mu siniya yaakubiri, oluvannyuma ne nnyingira Poliisi e Nsambya. Eno saalwayo ne nvaayo ne nzira e Kamuli ng’ekirooto kyange kutandikawo polojekiti ya kufumba ku mikolo.
Olugendo lubadde luwanvu n’ebizibu bibadde bingi naye kye nali ngoba kwe kutuukiriza ekirooto kyange era nkituuseko sitoma kuba buli mukolo gwe nfumbako nfissa amagoba agasoba mu kakadde.
ENTANDIKWA
Mu 1986, nazimba akayumba ak’ebiwempe ku Muteekanga Road mu kibuga Kamuli ne ntandika n’essowaani 6, nga bakasitoma balina okulinda bannaabwe ne bamaliriza okulya olwo nabo ne mbaweereza.
Olw’obuweereza obulungi n’enjogera esikiriza mu bano mwe nafunanga abansaba okubafumbira ku mikolo gyabwe.
Bano be baategeezanga abalala, anti olwo akatale kagaziwa. Ekyava mu kino kwe kupangisa akazigo ne ngaziwa.
Nagula ebikozesebwa ebirungi mu bungi abantu ne balema okubonaabona ate n’okumatiza ab’oku mikolo.
Mu 1993 lwe natandika okulya ku magoba gange. Kati emyaka giweze 30 nga ndi mu bizinensi mwe nguze ebibanja, nzimbye amayumba n’okuweerera abaana abamalirizza okusoma.
Amaanyi gange we gali
1 Gye buva ne gye budda, mu bizinensi omukozi abeera mukulu ku kugikuza oba okugisuula. Noolwekyo bwe mba ngaba emirimu situnuulira buyigirize wabula obukozi. Abayigirize oluusi bannemesa kuba baagala bya bbeeyi, emirimu egyaffe tebagisobola.
2 Nfuba okutendeka abakozi bange batuukane n’omutindo obutanswaza kusuula katale kange.
3 Nnoonya akatale naddala ku mikolo eminene kuba olwo lw’omatiza omuntu bw’oyolesa obukugu. Okugeza nafumba ku kuziika kw’omugenzi Alice Muloki (2004) n’okwa bba Henry Muloki (2008) okwali abakungubazi ab’asoba mu 30,000. Pulezidenti Museveni lwe yeebaza abantu e Kamuli ne Buyende n’emisomo gy’ebibiina mingi era gino ngifunirako ddala ssente.
4 Sseekuluntaza. Nfumbira buli muntu eyeetaaga kuba olwo mbeera ngaziya bakasitoma.
5 Okukkaanya n’obutayiwa bantu kikulu era kikuyamba okusigala mu bizinensi kuba be bakufunira abalala.
6 Okuyiiya kikulu. Bizinensi yange namanya nti etambula n’obutebe ssaako weema nabyo ne mbiyingirira.
7 Okubala ebitabo obutafiirwa magoba nakikwata era ky’ekisinze okumpanirira. Omulimu gwange nzimbyemu wooteeri ya Joy mu kibuga Kamuli era mbalibwa ku bakyala abalinawo kye balaga.
Nagula ne loole ey’ekika kya Fuso ku bukadde 50. Enkya Nume agenda kukulaga obulippo bw’abuuse n’engeri gy’akikoze.