17.4 C
Los Angeles
December 7, 2023
Image default
EbyobusubuziFeatured

Leero mu okikola otya: Musiitwa okukwata ebifaananyi akuzimbyemu goloofa kw’okomya amaaso!

Alex Edward Musiitwa 27, mukubi wa bifaananyi n’okukwata entambi ku mikolo. Mutuuze w’e Nalumunye – Katale. Azaalibwa omwami David Musisi n’omukyala Esther Musisi ab’e Mukono, Nassuuti. Era nnannyini kkampuni ya Alexandra Photography and Events Management.

Alex Edward Musiitwa 27, mukubi wa bifaananyi n’okukwata entambi ku mikolo. Mutuuze w’e Nalumunye – Katale. Azaalibwa omwami David Musisi n’omukyala Esther Musisi ab’e Mukono, Nassuuti. Era nnannyini kkampuni ya Alexandra Photography and Events Management.

Musiitwa anyuma engeri gy’asobodde okukyusa embeera:

Twakulira mu mbeera nnungi kuba abazadde baatuwanga buli kyetaago. Pulayimale nagisomera ku Top Care P/S, Mukono gye natuulira ekyomusanvu mu 2003.

Siniya eyookuna nagituulira Mityana Single S.S, ate siniya eyoomukaaga ne ngimalira ku Namboole High School mu 2009.

Mu luwummula olwa siniya eyoomukaaga nafuna ekirowoozo ky’okutandika okukuba ebifaananyi nga nkozesa kkamera y’awaka.

Nasooka kugezesa naye nalaba bifuna ne ngufuula omulimu. Buli kifaananyi nakifunangako 1,000/- nga ntaddemu nga 500/-.

Omulimu guno gwambeezaawo mu luwummula nga sirina gwe nsaba byetaago.

Mu 2010 natandika okusoma kompyuta ku yunivasite y’e Ndejje, naye era eky’okukola saakivaako.

Nayitiramu maama ekirowoozo kyange n’anfunirayo 3,000,000/- kwe nagula kkamera ya 800,000/- n’ebyetaagisa ebirala ebikozesebwa mu situdiyo.

Napangisa kumpi ne yunivasite y’e Makerere kuba we waateranga okubeera abawala abettanira ebifaananyi.

Embeera yasooka kukaluba nga nkolerera ssente za bupangisa. Nakolanga emisana ne nsoma akawungeezi.

Okulwanyisa embeera eno, nafuna abawala ababalagavu e Makerere ne mbakuba ebifaananyi ku bwereere ne nsobola okubatimba mu situdiyo yange nsikirize bakasitoma.

Ekiseera kyatuuka nga nnina okuwummuza emirimu mmalirize okusoma nga bwe nneetegereza bizinensi y’okukuba ebifaananyi.

Olwamaliriza diguli yange mu 2013 naddamu ebifaananyi, wabula ku mulundi guno baali bankozesa nga kino nakikola nsobole okwetegeka obulungi.

Nayiga ebintu bingi bye nali simanyi nga nneekozesa omwali okumanya ebifaananyi ebitunda n’ebitatunda.

Mu 2014 natandika bizinensi yange era kino nakikola mpola n’obwegendereza. Mu bifaananyi nzimbyemu amaka, nfunye emikwano n’okugaziya bizinensi yange okutuuka we nali sisuubira.

ENSONGA ZE NSIMBAKO ESSIRA

1 Obwesigwa n’okutya Mukama: Omuntu yenna akola bizinensi alina okuba omwesigwa mu mirimu gye era kino nkitambuliddeko ne nfunamu amagoba. Bwe mbeera siisobole kukukolera nkugamba.

2 Okutereka: Buli ayagala okukulaakulana alina okuyiga okutereka. Mu kukola kino oyita mu kwerumya naye ng’olina ekiruubirirwa.

3 Okukwata obudde: Obudde kikulu naddala mu kisaawe kyaffe eky’ebifaananyi kuba kikuwa oba okukugobako bakasitoma.

4 Enjogera n’abantu kikulu: Ekirungi ku bizinensi yaffe, omuntu gw’okoledde obulungi y’akutunda eri omulala, noolwekyo bw’oba abantu obayisa bubi wettira akatale.

Related posts

Abavubuka b’e Kawempe basabye Museveni addemu yeesimbewo mu 2026.

OUR REPORTER

Olusirika lw’abakulembeze ba Buganda lukomekkerezeddwa.

OUR REPORTER

Ababaka ba Palamenti basiimye Nnaabagereka.

OUR REPORTER

Leave a Comment