Laavu kye kimu ku bintu ebisinga okuwooma mu Nsi yonna.
Mu Bazungu, Bafirika oba Abachina tewali kintu kisinga laavu maanyi era Katonda ebintu byonna bye bamutenda okutonda wayinza obutabaawo kisinga mukwano.
Era ne mundwadde zonna ku Nsi oyinza okwesanga nga laavu yesinga okuluma.
Omuntu ayinza okulumwa puleesa oba omusujja ne bamugamba nti eddagala alisanga e Mulago nga ye awangalira Masaka kyokka ayinza okugaana okugendayo nanoga omululuuza oba ebikoola ebirala oluusi nawona, kyokka laavu gw’e yakedde okutemba nga gwayagala okwegatta naye ali South Africa omusanga alinga Munyonyo, agende yegatte mu kikolwa ne munne asobole okuwona.
Abalala bangi boolabye battiŋŋana oba okulwana ne beetuusaako ebisago ebinene ng’entabwe eva ku omu kumma munne kibala ng’ate oli kyayagala.
Ye ate Abagalana abava okuyomba oba okulwana okimanyi nti kasita bayingira ekitanda ne beekuba amatooke olwo nga byonna biwedde nga baddawo bupya?
Ye ate abo ababadde baawukanye?
Eddagala lyokka eriwangaaza laavu kwewaako.Yensonga lwaki laavu bwelwawo nga teriimu kwegatta ebeera egenze kufa.
Kirowoozebwa abakugu nti amazzi gekyama ku njuyi zonna galimu ekirungo ekiwummuza Abaagalana Katonda kye yassaamu ekitambuza laavu Abaagalana ne babeera nga bassa kimu okutuuka okufa.
Yensonga lwaki n’omukazi bano abakambwe nga Engo lwasuze ne bba ne bakimutuusaako kumakya akeera kumufumbira caayi n’agattako n’okufukamira nnyini amubuuzeeko.
Era laavu ngoyagala effe bwe ffifiriri ffi mugiseemu okummaŋŋana.
Abakugu bagamba nti abaagalana bangi mu laavu oba mu bufumbo abalina enkola y’okumma bannabwe laavu. N’osanga omukazi ng’agamba nti okuddamu okukombya ku munne mbu amala kumwanjula, oba kumukolera bizinensi oba kumugulira ssimu oba akakwakkulizo akalala konna abeera agisaddaase effe.
Oba omwami nga yeyeeduukuuza olw’ensonga emu oba endala n’agaana okumalira munne ekizibu mukaziwattu n’abeera ku muliro abeera laavu eyo agikooye kubanga ekiddako kufa era okummaŋŋana kulina ebintu bibiri ng’ekisooka bwe kutatta laavu eyo, kisoboka ate okuleeta endwadde.
Mujjukire mu butonde Omutonzi yakimanya nti ng’abantu omusajja yeetaaga omukazi ate n’omukazi yeetaaga omusajja.
Ekinu okutereera nga bakitaddemu omusekuzo gwakyo era ne bwoliba ne ssente mekka oba bugaggaki tewali kirala ne bwoliba n’ebitiibwa ebyenkanawa.
Kati ggwe okwefuula omugezi, otandike okumma banno mbu kubanga ossaawo obukwakulizo oyinza ate okusigala mu bbanga, lwansonga nti oli bwabeera ayagala aba ayagala era ggwe okumumma oba okumulumya oba okugaana okumutakula awamusiiwa, obeera omututte wekka mu kukemebwa.
Jjukira tewali mukazi abeera awo nga tewali musajja amuperereza, ne bwaliba mufumbo.
Kino kitegeeza nti ggwe okukuyita omuletere embazzi ayasise enkuze n’ogaana asobola okufuna omusajja omulala ku baaludde ng’alimbalimba oba baabadde akuukuula n’amumalira ekizibukye.
Oluusi ayinza n’okuba ng’akusinga ensumika kati olaba omukazi bwomugabudde.
Ye watya ng’omutima’ omusajja omupya aguwambidde ddala n’afuuka kamereke.
Ddala bwabeera n’endwadde nga tagenze kubawereba?
Ye ate ggwe omukazi amma omusajja ebijanjaalo olowooza ggwe wabibaza wekka?
Tokimanyi nti omusajja yenna wadde mwagatibwa empeta abeerayo n’abakazi abalala ebbali wakiri be yeegomba naye ng’oba olyawo baabulwa akakisa?
Olaba bw’omumma n’agenda ewa mukyala neyiba oba ekiwala kya bbaala oba malaaya oba gwaludde ngasabako namuwa ebintu?
Ate ng’oluusi omwana wabandi yakula n’awola nga ggwe oli biwero ng’ono ensulo takaliza alinga guno omugga Nabajjuzi.
N’olwekyo bannange eby’okwemma mubiveeko abasajja mubawe balye n’abakazi mubakoleko baleme kujula oba mwayombye, oba mwalwanye oba ssente zezaabuze ebyo tebibagaana kusinda laavu kubanga kyekisinga ate ne Katonda ebintu yatuwa byabuwa ku ffenna teri yasuubula nti bizinensi enemusala.
N’olwekyo ggwe ayagala okukuuma laavu eddagala erisooka liri mu kaboozi era oteekwa okwewa munno buli kaseera konna kofunawo olwo mujja kubeera bumu okutuuka Katonda lwalibaawukanya mu bulamu. Okwegatta lyedaggala lyokka erikuuma omukwano.