LOOLE ebadde ettise omusenyu eyabise omupiira n’eremerera omugoba waayo n’eyingira ekitoogo.
Akabenje kano kagudde Mpambire, ng’omugoba ne taniboyi abagibaddemu basobodde okugivaamu nga balamu.

Hassan Ssonko omu babaddewo ng’akabenje kano kaggwawo agambye nti mmotoka ebadde eva ku ludda lw’e Masaka ng’edda Kampala eng’ebadde ku kaserengeto ng’edduka nnyo, we yabikidde omupiira omugoba n’alemererwa n’emuwabako.