OMULAMUZI wa kkooti enkulu awulira omusango gw’okutta omuserikale wa poliisi Muhammad Kirumira asabiddwa obutafa ku busongaasonga avunaanibwa Abubakar Kalungi bwe yeesibako wabula amusingise omusango ogwamuggulwako ogw’obutemu.
Kalungi yakwatibwa ng’ ateeberezebwa nti ye yatta Kirumira ne mukwano gwe Resty Mbabazi Nnaalinya abaakubwa amasasi e Bulenga nga September 8, 2018 e Bulenga mu tawuni.
Leero enjuyi zombi ( olwa gavumenti oluwaaba n’olwa Kalungi) bawadde ensonga zaabwe nga buli ludda lusaba omulamuzi Margret Mutonyi abeere ku luli lwayo ng’asala omusango.
Kalungi agambye omulamuzi nti bwe yali ku poliisi e Kireka, baamukuba mu ngeri etagambika nga bamukaka okussa omukono ku sitetimenti egamba nti ye yalondoola emmotoka ya Kirumira era olwagiraba n’akubira abatemu essimu abajjirawo n’e mmundu ne bamukuba amasasi agamutta.

Agambye nti okukakasa nti yakubwa masasi ebbaluwa y’omusango eyamukebera eraga nti yalina ebiwundu mu ffeesi kyokka looya wa gavumenti Thomas Jatiko n’asaba omulamuzi aleme kubuzabauzibwa n’obuwundu obutonotono obwali mu ffeesi ye kubanga yabufuna agezaako kulwanyisa baserikale ba poliisi abamukwata gye yali yeekwese e Buliisa.
Kalungi ng’ayita mu looya we Zephaniah Zzimbe era akubye ebituli mu sitetimenti eno ng’agamba nti yawandiikibwa mu Luzungu ate eyagikola talina wakirambika nti yaddamu naagisomera Kalungi mu lulimi oluganda lw’ategeera nga tannagissaako mukono y’ensonga lwaki kkooti terina kugigenderako.
Looya Jatiko kino nakyo akigaanyi ng’ agamba omulamuzi nti sitetimenti eno bwe yaleetebwa mu kkooti n’ekkirizibwa okukozesebwa ng’obujulizi, Kalungi teyalaga kkooti nsobi zigirimu kyokka ku ssaawa esembayo nga bawumbawumba obujulizi obwaleetebwa kwe kusaba kkooti egobe ebyekwaso bye byonna emusingise omusango.
Ye omulamuzi alagidde omusango gw’okutta Kirumira guddemu nga March 24,2023 nga luno lwagenda okubaako ebikulu ebiri musango byategeeza abayambi ba kkooti.